Amawulire

Agambibwa okutta muganzi wa muwalawe bamuzzizza gye yakolera ettemu

POLIISI ezzizza Herbert Lumu Musaasizi mu maka ge e Matugga n’abalaga engeri gye yattamu Martin Bukenya 18, gwe yasanga ng’atwalidde muwala we akamuli ku lunaku lw’abaagalana.

Abatuuze nga bakung’aanidde mu maka ga Lumu eggulo nga Poliisi etutteyo Musaasizi.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

POLIISI ezzizza Herbert Lumu Musaasizi mu maka ge e Matugga n’abalaga engeri gye yattamu Martin Bukenya 18, gwe yasanga ng’atwalidde muwala we akamuli ku lunaku lw’abaagalana.
Musaasizi 41, bamulumiriza okukkakkana ku muyizi wa Hill Side SS e Matugga mu divizoni y’e Gombe, Martin Bukenya (18) n’amukuba bubi ekyamuviirako okufa. Eggulo poliisi y’e Matugga yatutte Musaasizi mu maka ge wakati mu byokwerinda eby’amaanyi n’abalaga engeri gye yakwatamu n’okukuba Bukenya.
Bwe yamala okutta Bukenya n’addukira e Gulu gye yali akolera era poliisi gye yamukukunudde.
Poliisi yasazeeko amaka ga Musaasizi agasangibwa e Matugga-Mabanda n’egaana abantu okugatuukako ne bakung’aanya obujulizi obugenda okweyambisibwa mu kkooti ng’aggulwako emisango egyekuusa ku kutta omuntu.
Okusinziira ku muliraanwa ataayagadde kumwatula linnya, poliisi eriko ebintu bye yazudde mu nnyumba okwabadde n'omuguwa gwe yasibisa omugenzi n’alaga n’engeri gye yamukuba okutuusa lwe yaggwaamu amaanyi.
Musaasizi yagambye nti, yasooka kusiba Bukenya n’akakasa nga talina w’ayinza kuddukira, n’alyoka amukkakkanako n’amukuba. Poliisi yamubuuzizza oba alina omuntu eyamuyambako ng’amukuba n’agamba nti yali yekka, ng’alina obusungu bungi.
Musaasizi yagambye nti, ekyasinga okumutabula kwe kuba nti Bukenya yali yamukwatira mu nnyumba ye mu December w'omwaka oguwedde n’amubonerezo era ensonga baaziyingizaamu omukulu w’essomero ne maama we. Kyokka tewaayita wadde emyezi ebiri n’addamu n’amusanga mu kifo kye kimu. Kyamwewuunyisa nnyo, abaana bwe baamutegeeza nti abadde tavaawo era nga w’alya n’emmere.
Poliisi oluvannyuma yamulinnyisizza kabangali n’emuzzaayo wakati mu bukuumi obw’amaanyi. Abatuuze baanenyezza munnaabwe okukozesa obusungu obw’ettumbiizi ne bagamba nti, emyaka gy’okuvubuka gibeera gya mutawaana era nabo baagiyitamu wakati mu kusoomoozebwa okw’enjawulo