Amawulire

OMUYIZI wa Univasite eyabadde abuze poliisi emuzudde ng'ali mu mbeera nnungi

OMUYIZI wa Univasite eyabadde abuze poliisi emuzudde ng'ali mu mbeera nnungi 

Nathan Tuwandike nga bwafaanana
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

OMUYIZI wa Univasite eyabadde abuze poliisi emuzudde

Nathan Tuwandike 25 nga muyizi mu Uganda Christina University era ng'abeera mu Nsibambi A11 e Mukono, azuuliddwa era ng'ali mu mbeera nnungi.

Yasemba okulabikako nga Feb 25 mu kabuga k'e Mukono kyokka ng'ebintu bye okuli amasimu byonna, yali abirise mu hostel era poliisi ebadde ku muyiggo gwe.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala Luke Oweyesigyire, agambye nti bakyamwekebejja okuzuula ekituufu ekyavuddeko okubula kwe.