Amawulire

Pulezidenti atadde obuwumbi 20 mu SACCO y'abakyala Abasiraamu

OMUKULEMBEZE w'eggwanga Gen.YKM7 asuubizza nga bwagenda okwongera ensimbi obuwumbi 20bn mu bibiina by’abakyala abasiraamu zibayambeko mukwekulaakulanya awamu n'okulwanyisa obwavu mu maka

Pulezidenti Museveni ng'asisinkanye Abasiraamu
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Bya Aidah Nakazzi

OMUKULEMBEZE w'eggwanga Gen.YKM7 asuubizza nga bwagenda okwongera ensimbi obuwumbi 20bn mu bibiina by’abakyala abasiraamu zibayambeko mukwekulaakulanya awamu n'okulwanyisa obwavu mu maka....
President okwogera bino abadde asiibulula nnamungi w'Abasiraamu ku kisaawe kya Lugogo mellinium era nga omukolo guno gwatekedwa Hadijah Namyalo akulira office ya Pulezidenti e Kyambogo.

Mungeri yeemu president asanyukidde enkola ya Tamini General insurance kyagambye nti eno yakuyamba buli munayuganda nga tesosodde mwavu na muggagga.

Pulezidenti Museveni ng'atongoza Insurance y'Abasiraamu

Pulezidenti Museveni ng'atongoza Insurance y'Abasiraamu

Ye omukwanaganya w'emirimu gya office ya president eye kyambogo era nga yemuwabuuzi we owebyobufuuzi Omukyala Hajati Hadijah Namyalo akakasizza nga bannayuganda naddala bamufuna mpola bwebagenda okuganyulwa mu nteekateeka ya yinsuwa etongozedwa kampuni ya Tamini General insurance

Ye Amir Shk. Muhamad Kamoga wano wasinzidde n'asaba president M7 okuddiramu abasiraamu abakyali mu makomera abasonyiwe nga bweyakozze ku Muhammad Sebufu abadde yasibibwa emyaka 40yrs.