ABATUUZE be Mutungo zooni 1 mu munisipaali we Nakawa bemulugunyizza ku myala egitali mibikke gyebagamba nti giyinza okubaviirako okufiirwa obulamu nga bagudemu.
Ebinnya bino bisangibwa ku Kintu Road nga abatuuze baayo bali mu bweraliikirivu nga baagala ab’obuyinza baveeyo babibikke nga tebannaba kufuna buzibu bwonna.
Amyuka Ssentebe wa Zooni eno, Ibrahim Nshekanabo alaze eobwennyamivu n’ategeeza nti okutya okusinga kuli mu baana abato abakozesa oluguudo luno nga essawa yonna bayinza okugwamu.
Ategezezza nga ebinnya ebimu ku luguudo luno bwebyali byabikkubwa kyokka olw’emmotoka ennene ezibiyitako byaddamu nebigwamu.
Asabye ab’obuyinza okukola ebikwekweto ku mmotoka zonna eziyita ku myala wezitalina kuyita zikwatibwe nebannyini baazo bavunaanibwe.
Asabye ekitongole kya KCCA okufuba okulaba nga bakwata abantu bano kubanga singa tekikolebwa abantu bagenda kugwa mubinnya bino nddala mu budde bw’enkuba nga balowooza waliwo mazzi.
Kansala w’ekitundu kino, Muhammad Ssempijja yenyamidde olw’embeera y’ebinnya bino n’okuba nga ku luguudo tekuli mataala ky’agamba nti kiteeka obulamu bwabwe mu matigga.
Ategezza nga bwebagenda okwongera amaanyi mu kutuukirira abakwatibwako ensonga eno omuli ne KCCA okulaba nga ensonga eno enogerwa eddagala nga tekinnaba kusajjuka