SSENTEBE wa NRM e Lubaga Ivan Majambere Kamuntu Ssemakula awabudde bannayuganda naddala abavubuka, okwettanira ebintu ebivaamu ssente ng'obulimi beekulaakulanye.
Agamba nti, ekiseera kyetulimu kyakubaako byetukola naddala mu bavubuka, bave mu by’obufuzi kuba byawedde, batandike okubaako kyebakola omuva ssente beekulaakulanye.

Majembere ng'ali mu nnimiro ye
Bino abigambye abamu ku ba nnaLubaga beeyasitudde naatwala ku faamu ye esangibwa e Masaka; kwalundira ente, okulima emmwaanyi, kasooli, ebitooke, n’okulunda embizzi, naabalaga engeri ate gyafuna ssente mu bulimi okwongereza ku mirimu gya ofiisi naakulaakulana.
Alabudde abavubuka nti, bannabyabufuzi babakozesa naye kati akalulu kekaawedde baakuddamu kulabika mu 2030 ng'okulonda okuddako kunaatera, nti kale basaanye beerowoozeeko mu by’enkulaakulana bave mu pokopoko weby'obufuzi.
N'ategeeza nti, pulezidenti Museveni ataddewo emikutu egiwera abantu mwebasobola okufuna ssente okwekulaakulanya omuli ssente; PDM n’Emyooga nti bakozese omukisa ogwo baafune ku ssente ezo beekulaakulanye.

Majembere ng'ali ku kiyumba ky'ente ze
Ate naye nga Majambere yaabatandikiddewo ekibiina ky’obwegassi (SACCO) eya Step Forward Empowerment SACCO, eri bannaLubaga ne bannayuganda bonna, nti kale nayo basobola okugyeyambisa okutereka n’okwewola ssente beekulaakulanye, ssaako okugyettanira okubayigiriza emirimu gy’omutwe egy’enjawulo nagyo egibayamba okwekulaakulanya.

Majembere ng'ali ku kiyumba ky'embizzi ze
Ono agamba nti, faamu ye yaagikola ebbanga ssi ddene emabega ng’ayambibwako enkola ya Operation Wealth Creation ekikulemberwa Gen. Salim Saleh, gyagamba nti emuyambye emuyambye nyo okumuteekamu amaanyi okukula okuba munnayuganda ow’amaanyi.
Agamba faamu ye agyenyumirizaamu kuba emuwa ekiwera, nga kati agezaako okwongeramu obuyiiya okugitumbula, n'ategeeza nti essaawa eno yatandise okulunda ente era alinawo 2 ezaazadde zivaamu liita z'amata 30 olunaku Zaatunda ku 1,600/ buli liita, naafunamu 48,000/ olunaku, ate akyayongera okusingawo ennyo okutuuka ku liita 400 olunaku.

Majembere ng'awa ente ebisagazi
N’awabula abavubuka abalina ebyalo gyebalina ebibanja oba ettaka, batandikire awo okulima n'okulunda kuba enkumbi terimba, nti ye wadde alina obuvunaanyizibwa bwa ofiisi ya ssentebe wa NRM e Lubaga, ofiisi agivaamu ate naagendako mu nnimiro naalima era teyeejjusa.
Alambuzza abavubuka faamu ye, naabasaba okumukoppa babeeko byebakola baleme okuwubisibwa okugenda mu bitabayamba.