ABAYIZI bana ab'essommero lya St. Peter's Naalya baddusiddwa mu ddwaliro okufuna obujjanjabi oluvannyuma lwa mmotoka mwe baabadde okutomeragana bwenyi ku bwenyi ne loole.
Christabella Awori, Claudia Namukasa, Margaret Atwone ne Prudence Tumugabirwe be bapooca n'ebisago.
Omwogezi wa poliisi mu Savanna ASP Sam Twineamazima ayaegeezezza nti akabenje kaagudde ku kyalo Kakindu mu ggombolola y'e Wabinyonyi mu Nakasongola ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu ku Sande ku makya.
Kyaddiridde mmotoka ekika kya Fusion UBQ 935Y eyabadde eva e Kampala okudda e Gulu okugezaako okuyita loole y'amafuta n'eyambalagana ne costa UBK 257F ekika kya ambyulensi eyabadde eva e Gulu okudda e Kampala omwabadde abayizi.
Twineamazima yagambye nti akabenje kaavudde ku yabadde ayisa okuvuga endiima n'alaajanira abavuga ebidduka kunguudo zinmwasanjala okubeera abeegendereza nga bayisa n'okugondera amateeka g'okunguudo omuli okusoma obupande.
Ebidduka ebyakoze akabenje byatwaliddwa ku poliisi e Katuugo okwekebejjebwa ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.