ABANYUMIRWA omuziki, baafulumye ekisaawe e Kololo ku Lwokutaano nga banyumiddwa bya nsusso!

bantu nga banyumirwa endongo ya Bamakoma.

Natalie Makoma, omu ku bayimbi abali mu bandi ya Makoma ng’ayimbira abantu.
Don Wanyama, akulira Vision Group yeebazizza abantu abaajagulizzaako New Vision. Era yeebazizza abawagidde ekivvulu kino okuli; Pacific Events, NBS TV, Pepsi, MTN, Sky’s Hotel Naguru, Safe Boda, Sumz n’abalala. Bamakoma baawerekeddwako abayimbi okwabadde Pasita Bugembe, Recheal K, Pasita Brian Lubega n’abalala.