ABAMU ku batunda mmotoka mu Kampala ne babbulooka baazo abakolera mu bibangirizi eby’enjawulo basattira olw’ekiragiro kya minisita eyabalagidde okwamuka ebifo ebyo.
Abasinze okusattira be bakolera ku Jinja Road okuva ku Spear Motors okutuuka e Bweyogerere. Minisita omubeezi olw’ebyentambula Musa Ecweru, yalagidde bonna abakolera mu bibangirizi by’ekkubo (Road Reserves) okuliraana ebibanda bya mmotoka okubyamuka ng’omwezi guno tegunnaggwaako.
Minisita agamba nti bwe baneesisiggiriza, baakukola ebikwekweto baziggyeko ku kifuba. Oluwulidde bino, abatunda mmotoka mu munisipaali y’e Nakawa mu kibiina kyabwe ekya Nakawa Car Dealers Joint Committe ne balaga obweraliikirivu olw’ekiragiro nga bagamba nti tebawakanya kiragiro kya minisita wabula tebannategeezebwa mu butongole.
Ssentebe waabwe Isa Ssengooba agamba nti ekituufu bakolera mu bibangirizi bya kkubo naye ebyogerwa babiwulira mu mawulire na kubiraba ku mitimbagano.
Ssengooba asabye minisita Ecweru abasisinkane bamubuulire okusoomoozebwa kwe balimu basalire wamu amagezi. Yagambye ebifo we bakolera si byabwe wabula nabo bayiiyizaawo era tebasobola kujeemera Gavumenti kuba baagala ekibuga ekiyonjo naye kirina okubeeramu abantu abakikoleramu.
Ssengooba yategeezezza nti omulimu gw’okutunda emmotoka tegulina we gukyafuwaliza kibuga era abakolera mu bifo bino bafubye okwekuuma obuteenyigira mu bumenyi bw’amateeka mu bifo we bakolera n’okugondera amateeka nga tewali gwe bakkiriza kukolera mu kkubo okutaataaganya ntambula naye we bali, walako n’ekkubo.
Yeemulugunyizza ku basimba mmotoka mu bibangirizi bino ne bazirekawo ekimenya amateeka nga ne poliisi tebayamba. Ssengooba agamba nti bano be baleetawo akalippagano ne balabisa bubi omulimu gwabweSsengooba yalaze nga abakolera mu bifo bino bwe bazze bebbulula mpola ng’okubagoba tewali we bajja kudda.
Okusoomoozebwa kuno kwe baagala okubuulira minisita Ecweru kuba mu kifo kino bakozesa abantu abasoba mu 1,000 abajja okukosebwa.
Ssengooba agamba nti tebaagala kusindiikirizibwa wabula okuvaawo mu mirembe nga bakwataganye ne minisituley’ebyentambula ne poliisi nga tewali kyonooneddwa