Omuliro gukutte ekiyumba ky’omulunzi e Kinawataka enkoko 650 ne ziggya zonna ne zifuuka bisiriiza wamu n'ebintu ebirala mu muliro ogukutte ekiyumba ky'omulunzi e Kinawataka.
Gubadde mu Kaggo zzooni e Kinnawataka mu munisipaali y'e Nakawa mu Kampala mu kiro ekikeesezza leero.
Omuliro guno kigambibwa nti gwandiba nga guvudde ku masannyalaze era nga poliisi ezikiriza omuliro esanze obuzibu bw'amakubo, okutuukayo.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, agambye nti nga bakolagana n'abatuuze, basobodde okuguzikiriza naye ng'okunoonyereza kukolebwa.