POLIISI ekutte omubuvuka eyabbye ensawo ku musajja n’atwala ebyabaddemu okuli n’essimu n’ayogera gye yagitunze abaserikale né bagendayo ne bagizuula.
Allan Ebong eyakwatiddwa abaserikale okuva ku poliisi ya CPS oluvannyuma lw’okubba ensawo y’omusajja ku William Street okumpi ne Equatorial Mall n’adduka nayo n’aggyamu ebintu be yabaddemu naddala essimu n’gitwala n’agiguza abaamaduuka ku kizimbe kya KK Trust ku Namirembe Road.

Ebong gwe baakutte
Amyuka Omwogezi wa poliisi mu Kampala némiriraano Luke Owoyesigyire yagambye nti okusobola okukwata Ebong kyaddirdde omusajja gwe yabbyeko ensawo okugenda ku poliisi n’aggulawo omusango wamu n’okwetegereza ebifaananyi ebyakwatiddwa kkamera z’oku nguudo ebyalaze nga bwe yabadde awummulidde ku ku mabbali ekiri ku Kyaggwe Road okumpi ne Mukwano Mall.
Yagambye nti oluvannyuma lw’okumanya ekitundu Ebong eyabadde addukidde abaserikale okuva ku poliisi ya CPS bagende ne bamukwata ne bamukunya n’ayogera gye yabadde akwese ensawo wamu n'essimu gye yabadde agitunze era n’abatwalayo.
Yategeezezza nti abaserikale bwe batuuze ku dduuka basazeewo layini y’essimu eyazuuliddwa nti ye yabadde mu ssimu gye yabbye ebadduka enaabakkiriza okukwasa abaserikale .
Yagambye nti Ebong y’omu ku babbi aboolulango nga bagenda ne babba abantu mu kitundu ekitwalibwa poliisi ya CPS ne baddukira mu bitundu birala nga balowooza tebakwatibwe wabula nga poliisi yasobodde okumukwata yagguddwako omusango gw’okubba.