KKOOTI enkulu eyimirizza ssaabawaabi wa gavumenti okutunda mmotoka za Sipapa n’ebizibiti byonna ebyakwatibwa mu maka ge.
Ofiisi ya ssaabawaabi wa gavumenti yagenda mu kkooti ng’eyagala bayise ekiragiro ekikkiriza okutunda ebintu ebyaggyibwa ewa Sipapa, omulamuzi n’agamba nti okubitunda kujja kutaataaganya entambula y’omusango n’abawawaabirwa obutafuna bwenkanya wabula yakkirizza ssente enkalu ziteekebwe mu bbanka.
Ssaabawaabi wa gavumenti nga yeesigama ku kirayiro kya D/CPL Serulo Gyabi mbega wa poliisi eyakola okunoonyereza ku misango gya Charles Olimu amanyiddwa nga Sipapa, yasaba kkooti nti ebintu okuli mmotoka, kkompyuta, amasimu n’ebirala bikaddiwa ne biggwa mu mulembe n’olwekyo kisingako okubitunda ne baggyamu ssente nga tebinayonooneka.
Ekirayiro kya Serulo kyawerekerwa ekya David Tumwesigye omukugu ku bibalo okuva mu ofiisi ya ssaabawaabi wa gavumenti ne bategeeza nti nga bakola okunoonyereza ku bwannannyini bw’ebintu ebyakwatibwa ne Sipapa n’engeri gy’abiranako akakwate.
Ebimu ku bintu ebyaggibwa ewa Sipapa kuliko essimu ya Sky Blue Iphone eya Arok Nul Jacob, ensawo ey’oku mugongo ng’erimu laptop ssatu ezigambibwa nti za Arok , nnamba za mmotoka, emmotoka, boda boda, ssente eza pawundi, ddoola, euro, n’eza Uganda, eby’okwewunda by’abakyala, kkompyuta, amasimu g’abo mu maka ga Arok ,agababibwako , n’ebintu ebirala bingi nnyo.
Bano bagamba nti Sipapa avunaanibwa ne mukyala we Shamira Nakiyemba Rukia baalemwa okunnyonnyola ensibuko y’ebintu ebyo n’okulambika obwannannanyini bwe babirinako nga bakimanyi bulungi nti ebintu ebyo byafunibwa mu ngeri ya bumenyi bw’amateeka.
Sserulo yabuulira kkooti nti ebimu ku bintu bino byali bikozesebwa mu bumenyi bw’amateeka mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo ng’ate sipapa Talina mulimu gumanyiddwa mw’aggya ssente.
Baayongeddeko nti okubitunda tekuyinza kukosa Sipapa ne mukazi we kubanga ssente ezinaavaamu zijja kukuumibwa ku akawunti emanyiddwa ng’era tewali ajja kuzikozesa oba okubuzaabuuza.
Ofiisi ya ssabawaaabi wa gavumenti yakiikirirwa Annete Namatovu Ddungu ate Sipapa ne bannamteeka be tebassaamu kwanukula kwonna.
Omulamuzi Elubu mu nsala ye yagambye nti wadde amateeka gakkiriza okutunda ebintu mu mbeera eyo, kyokka kirina kusooka kukakasibwa nti ddala omuwawaabirwa yazza omusango ogwo ate amateeka gakkiriza ebintu ebyo kuweebwa nannyini byo.
Yayongeddeko nti ssaabawaabi wa gavumenti teyagoberedde mateeka okukakasa nti ebyo byakozesebwa mu buzzi bwemisango oba byafunibwa mu bumenyi bw’amateeka ng’ate Uganda terina tteeka lirambika ku bizibiti okutundibwa ng’omusango tegunasinga muwawaabirwa.
Mu kugoba okusaba kwa ssabawaabi wa gavumenti, Elubu yagambye nti abawawaabirwa bajja kwetaaga okussaamu okwewozaako kwabwe ng’ebiziti mw’obitwalidde era okubitunda nga tebamalirizza mutendera guno kiyinza okulemesa okufuna obwenkanya.