Amawulire

Owettima alunze obutwa mu mmere ya bantu 6 abaffamire yeemu ne baddusibwa mu ddwaaliro nga bataawa

ABANTU 6 abaffamire emu baddusiddwa mu ddwaaliro e Mulago nga bali mu mbeera mbi oluvannyuma lw’okulya emmere eteeberezebwa okubaamu obutwa.

Owettima alunze obutwa mu mmere ya bantu 6 abaffamire yeemu ne baddusibwa mu ddwaaliro nga bataawa
By: Moses Lemisa, Journalists @New Vision

ABANTU 6 abaffamire emu baddusiddwa mu ddwaaliro e Mulago nga bali mu mbeera mbi oluvannyuma lw’okulya emmere eteeberezebwa okubaamu obutwa.

Bino byabadde mu zooni ya Kanyanya e Komamboga, mu munisipaali y’e Kawempe, omuntu ow’ettima atannategeerekeka bwe yatadde ebigambibwa okuba obutwa mu mmere ekyavuddeko abaana 4 okuddusibwa mu ddwaaliro nga bataawa.

Michael Buyondo Ssentebe W'ekitundu Ng'agenze Okulambula Ku Ffamire Eyalidde Obutwa.

Michael Buyondo Ssentebe W'ekitundu Ng'agenze Okulambula Ku Ffamire Eyalidde Obutwa.

Prossy Nalubega,35, maama w’abaana bano yagambye nti, emmere yabadde mu ffumbiro ly’ebweru okutali luggi.

Yagambye nti, ku ssaawa 2:00 ez’ekiro, yabadde mu nnyumba nga balaba akazannyo ku ttivvi ng’ateebereza nti, wano omutemu we yafunidde akaagaanya n’abateera obutwa mu mmere.

Yagambye nti, ye teyalidde ate bba yabadde alidde emisana ng’ekiro teyazzeemu kulya era bo tebaakoseddwa.

Omu Ku baana abaakoseddwa.

Omu Ku baana abaakoseddwa.

Yagambye nti, yajjulidde abaana emmere ne balya wabula ekyazzeeko kukaaba mutwe kubaluma, ssaako olubuto n’omusujja.

Abaasinze okukosebwa ye Derrick Nsubuga,13, asoma P.5 ne Denis Mutebi owa P.4 nga bombi bayizi ku First Step era bakyali ku kitanda e Mulago.

Ate Angel Nantale ne Sharon Nalwoga baatwaliddwa mu ddwaaliro ly’e Komamboga gye baazuulidde nti, baalidde obutwa nabo ne babongerayo e Mulago.

Tags:
Amawulire
Owettima
Mmere
kudduka