Amawulire

Agambibwa okugezaako okubba waya z'amasannyalaze gamukubye ne gamutta!

Omusajja agambibwa okuwalampa ekikondo ky'amasannyalaze amangi n'ekigendererwa ky'okubba waya n'ebikondo, gamukubye ne gamuttirayo.

Agambibwa okugezaako okubba waya z'amasannyalaze gamukubye ne gamutta!
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Omusajja agambibwa okuwalampa ekikondo ky'amasannyalaze amangi n'ekigendererwa ky'okubba waya n'ebikondo, gamukubye ne gamuttirayo.

Bibadde ku kyalo Bamugaya mu ggombolola y'e Najjembe e Buikwe, amasannyalaze ag’amaanyi amangi, gye gaamuttidde.

We tukoledde eggulire lino, ensonda mu poliisi, zitegeezezza nti abaserikale nga bali wamu n'abekitongole kya UEDCL, babadde bakola butaweera okuggyayo omulambo gw'omusajja ono waggulu ku bikondo gye gulengejjera.

Tags:
Masannyalaze
Waya
Kukuba
Kutta