Amawulire

Mayiga afungizza ku bulwadde bwa nnalubiri

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga atongozza enteekateeka omugenda okuyitibwa okusonda ssente okuzimba ekifo we bagenda okukyusiza obusomyo bw'abantu abatawaanyizibwa obulwadde bwa nnalubiri, bafune obulamu obuggya.

Katikkiro Mayiga (owookuna ku kkono) n’abakungu okuli Julius Kakeeto owa Pearl Bank (ku kkono), akulira JCRC Dr. Kityo (owookubiri ku kkono), Gavana Geoffrey Martin Kitakule (owookusatu ku kkono) n’ab
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga atongozza enteekateeka omugenda okuyitibwa okusonda ssente okuzimba ekifo we bagenda okukyusiza obusomyo bw'abantu abatawaanyizibwa obulwadde bwa nnalubiri, bafune obulamu obuggya.
Omukolo gwabadde Mmengo era Katikkiro Mayiga n'akunga abantu okuwagira enteekateeka eno egendereddwaamu okutumbula ebyobulamu mu Buganda ne Uganda.
Ekifo kino kigenda kubeera ku kitongole kya Gavumenti ekinoonyereza ku bulwadde bwa mukenenya ekya Joint Clinical Research Centre (JCRC) e Lubowaa mu disitulikiti y’e Wakiso.
Akulira JCRC, Dr. Cissy Kityo yagambye nti, Uganda ekwata kyakuna mu mawanga ga Africa okubeera n'obulwadde bwa sikoseero (nnalubiri) noolwekyo okuzimba ekifo kino kyakuyamba Bannayuganda bangi ku ndwadde ez’enjawulo.
“Ekifo kino kyakutuyamba okunoonyereza ku bulwadde buno n'endwadde endala nga mukenenya. Okunoonyereza kulaze nti waliwo abantu abaazuulibwa nga bawonye siriimu oluvannyuma lw'okukyusibwa obusomyo. Noolwekyo kino kijja kutuyamba mu kunoonyereza okutali kumu,” Dr. Kityo bwe yagambye.