AKULIRA ebibiina by’obwegassi mu divizoni y’e Nakawa, Joshua Bateeze asabye abantu okwettanira ebibiina by’obwegassi okweggya mu bwavu.
Yabyogeredde ku Kamwesi Hotel mu Kampala ku mukolo ogwategekeddwa bammemba ba RUKUSA SACCO nga bajaganya okuweza emyaka 5. Yagambye nti, tewali ngeri muntu gy’asobola kukung’aanya ssente ne ziwera nga tayise mu bbiina by’obwegassi. N’agamba nti, ne Gavumenti yataddewo ebibiina by’obwegassi okuyambako abantu okuva mu bwavu n’asaba abantu okubyeyuna.
Ssentebe wa RUKUSA SACCO, Vanansio Natuhwera yagambye nti, SACCO yaabwe ebayambye okwekulaakulanya. N’agamba nti, olw’okuba bammemba batereka bulungi, SACCO yaabwe etuuse mu kawumbi kalamba.