OMULWANIRIZI we ddembe lya bantu mu ggwanga era ayaliko Minister Hon Miriam Matembe akalaatidde abakyala oba abawala okwelwanako basobole okwewala okunyigirizibwa abasajja .
Bino Matembe okubyogera abadde ntebe mu kujaguza olunaku lwa bakyala olubadde ku SOS childrens Village kifo ewakuUmirwa abaana abatalina buyambi ku Baita Ababiri .
Ono agambye nti kyandibadde kirungi omukyala okuyisibwa kyenkanyi n'abaami kubanga bombi tewali kyamanyi kibawuula wadde nga tebalina kuva ku buvunanyizibwa bwabwe nga abakyaala .
Agenze mu maaso n'agamba nti ensonga lwaki waliwo okusosola wakati w'abakyala n'abaami kiva nzikiriza mu by'obuwangwa , enzikiriza mu madiini kyagamba nti si kirungi kubanga omusajja byasobola okukola n'omukyaala asobola okubikola ate olumu nasinga nomwami .

Miria Matembe wamu ne Weebale Benon ( amudiridde) akola nga akulira ekitongole Kya SOS children's village wamu nabakulembeze abalala .
Webale Benon akola nga akulira SOS mu Uganda agambye nti basazeewo okujaguza olunaku lwa bakyala mu ggwanga okusobola okulaga abantu obulabe obuli mu kusosola mu bakyala .
Ono agambye nti okusobola mu bakyala kiviirako okulemesa ne nkulakulana mu ggwanga kubanga abakyala balemesebwa okukola n'ebintu bye bandisobodde okukola .
Asembyeyo nga agamba baagala embeera ezinyigiriza abakyaala nga zivaawo nadala okulemesa abakyaala okusika singa omuntu affa , okubagana okugenda kusomero , okubatuugunya ewakka byagamba nti bikolwa bikyaamu nnyo ebirina okulwanyisibwa .