EKIBIINA ekigatta abakozi mu ggwanga ekya National Organisation of Trade Unions (NOTU) bataddewo omukutu abalina okwebuuza n’okwemulugunya ku nsonga za bakozi we basobola okuyambibwa
Omukutu guno ogwatumiddwa “NOTU Migrant Workers” gwatongozeddwa , Kaminsona Lawrence Egulu okuva mu minisitule evunanyizibwa ku by’emirimu ne kikula kya bantu ku mukolo ogwabadde ku Hotel African nga gwetabuiddwako abakungu ab’enjawulo okuva mu bitongole bingi ebivunanyizibwa ku bakozi ne by’emirimu omuli abatambuza abantu , minisitule evunanyizibwa ku bakozi nabalala
Egulu yasiimye enkola etandikiddwawo NOTU wabula n'alaga nti buvunanyizibwa bwabwe okulaba nga bakolera wamu okusobola okutunda , okubunyisa n’okutumbula enkola eno okulaba nga ebbuna eggwanga lyonna .

Egulu ku ssimu ng'agezesa omukutu okugutongozeddwa
Yagambye nti enkola eno egenda kuyambako kinene okulolonda abakozi ababdde bafuna obuzibu naddala abatwaliddwa okukola mu mawanga ge bweru
“Kibadde kizibu okutegera omuwendo gw’abakozi abali ebweru we ggwanga kubanga abamu babadde bafuluma nga bakukusiddwa ne batwalibwa mu biyumba wabula bamanyika luvannyuma nga bamaze kufuna buzibu .
Wabula enkola eno egenda kuyambako okubalondola kubanga bangi bajja kweyambisa omukutu guno okubatukirira basobole okuyambibwa mu bwangu “ Egulu bweyagambye
Egalu yayongeddeko nti enkola eno okutambula obulungi batekeddwa okwegatta bakolere wamu ne bibiina byonna ebivunanyizibwa ku nsonga za bakozi okulaba nga balwanirira eddembe lyabwe bonna , yonna gye bakolera n’okulaba nga bakulaakulana .Yayongeddeko nti kigenda kuyambako okugondezamu abantu abagala okukolera mu mawanga amalala nga basooka kwebuuzako ne bamanyisibwa ekikwata ku mawanga gye bagadde okugenda okukolera ne nneyisa ya bantu bano baleme kuggwayo nga tebategedde nkola yabwe
Musa Okello nga ye ssentebe we kibiina kya NOTU yagambye nti omukutu guno gwa bantu bonna awatali kulobozamu , nasaba okugweyambisa nga baliko ensonga yonna gye bagala okwebuuzako ekwata ku mukozi .
Yayongeddeko nti nti abantu basobola okweyambisa omukutu guno nga babatukirira nga tebanaba kusalawo ku nsi gye bagenda okukolera basooke bamanye ebigikwatako ne mbeera y’obudde oluvannyuma balyoke bagende nga alinako eitono kyagitegerako .
Richard Bigirwa nga ye ssabawandiisi we kibiina kya kya NOTU yagambye nti omukutu guno gwatondeddwawo nga bayambibwako ekibiina kya bakozi mu nsi nyonna ekya International Labour Organization (ILO) nga bagenda kukolera wamu mu kutumbula embeera abakozi mu mawanga yonna gye bakolera .

Abakulembeze ba NOTU n'abamu ku beetabye mu kutongoza omukutu
Yagambye nti balina abakozi abali obulindala nga bagenda kukolera wamu ne bitongole bya gavumenti ebyenjawulo ebikola ku by’okwerinda omuli poliisi , ISO , ESO ne birala nti singa omukozi yenna afuna obuzibu ne bwabeera mu kiyumba asobola okulondolwa nayambibwa singa abatukirira ku mukutu okulabanga nga ayambibwa okuva mu kizibu kino , Yagambye nti basobola okukozesa abenganda zaabwe ne babatukirira ku mukutu guno 0800111445 nga tosasaudde
Era enkola eno egenda kuyambako okutangira abakozi abali mu ggwanga nabali ebweru we ggwanga okutulugunyizibwa ne gavumenti okulaba nti abantu bano bakola kinene mu nkulakulaana ye ggwanga .
Bigirwa yagambye nti abantu abakolera ebweru betaaga okumanyisibwa ku ngeri gye basobola okukola nga ssente zabwe tezibbibwa benganda zabwe nga tubayambako okuyigira mu bitongole nga NSSF , Yinsuwalensi ebisobola okutereka ssente zaabwe okumala ebbanga ne basobola okuzisanga nebazikozesa okwekulakulaanya .
Namubiru Rwabushaija omubaka wa bakozi yagambye nti abakozi bbafunye eddooboozoi eryawamu eribayambako okuguusa ensonga zabwe ne zisobola okuwulikika mu bantu abayinza okubayamba nga bayita mu tteeka lya bakozi erya ILO
Yagambye nti enkola eno yakumbako okukendeza enkola y’okukusa abantu nga batwalibwa mu mawanga amalala nga nga tebamanyi kyebagendako n’okumanya gye bagenda engeri gye wafananamu