MINISITA w’ebyensimbi ayanjulidde Palamenti Bajeti empya ya buwumbi 84,200 bw’ataddemu emisolo emipya n’okwongezza emikadde ku bintu eby’enjawulo omuli n’ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo.
Minisita omubeezi ow’ebyensimbi, Henry Musasizi ye yayanjudde Bajeti mu lutuula lwa Palamenti olwakubiriziddwa Sipiika Anita Among oluvannyuma eyagiweerezza mu kakiiko ka bajeti, ababaka okutandika kugyekenneenya, esobole okuyisibwa nga Palamenti eno eri mu kisanja kyayo ekisembayo tennasattululwa nga April 24 2026.
ABAYIMBI NEBANNAKATEMBA
Abayimbi ne bannakatemba bagenda kutandika okusasulaomusolo gwa withholding tax. Abategesi b’ebivvulu balagiddwa okusookanga okwawula ssente zino ku muwendo gwa ssente gwe baba bapangisizza abayimbi.
BEETINGI
Kkampuni za beetingi ziteereddwaako omusolo gwa bitundu 30 ku 100 ku magoba ge baba bakoze oluvannyuma lw’okwawulako ze baba bataddemu.
WALIWO ABALIDDE
Essira lyateekeddwa ku kukuuma emirembe n’obutebenkevu, okukola enguudo, okubunyisa amasannyalaze, entambula y’eggaali y’omukka, okwetegekera empaka za AFCON 2027, okuliyirira abaakosebwa olutalo e Teso, Lango ne Acholi, okwongera emisaala gy’abasomesa n’abasirikale. Waliwo abantu abafunye obutereevu mu Bajeti ng’abakozi ababadde basasula omusolo gwa Pay as You Earn okutandikira ku Shs235,000. Baagulinnyisizza ng’abagenda okuguwa be bafuna Shs. 335,000 n’okudda waggulu.
Kyokka abasasulwa obukadde 10 n’okudda waggulubagenda kusasula omusolo gwa bitundu 40 ku 100.
Emisaala gy’abasomesa ba Arts gwongezeddwa n’ebitundu 25 ku 100 nga baaweereddwa obuwumbi 554 nga kino kijja kukolebwa okumala emyaka ena. Okwenkana emisaala gya bannaabwe aba Sciences, beetaaga obuwumbi 2,500. Okukola oluguudo lwa Kampala-Jinja Express way, Standard Gauge Railway, olw’eggaali y’omukka (Meter-Gauge Railway), okubunyisa amasannyalaze mu bifo by’amakolero n’amazzi byonna awamu awamu biweereddwa obuwumbi 1,380.
Abasuubuzi ababadde bakaaba olw’enkola y’okusasula omusolo gwa VAT mu nkola ya EFRIS baalinnyisizza omuwendo gwa ssente kwe balina okutandikira okukozesa enkola eno okuva ku bukadde 150 okutuuka ku bukadde 250. Okwongera amaanyi mu malwaliro amakulu agawa obujjanjabi obw’enjawulo n’okugongeramu eddagala eryetaagisa, biweereddwa obuwumbi 556 n’obukadde 78. Okwetegekera obulungi empaka z’ekikopo kya AFCON ekigenda okuyindira mu
ggwanga kiteereddwaamu obuwumbi 496. Okugula emmotoka z’ababaka ba Palamenti
ey’e 12 kwakumalawo obuwumbi 166 n’obukadde 80. Okudaabiriza n’okulabirira enguudo za KCCA, emyala n’okugirongoosa nabyo biteereddwako obuwumbi 111.
Ebintu ebyetaagisibwa ekitongole ky’ennyonyi ekya Uganda Airlines biteereddwaako
obuwumbi 145. Ekitongole ekivunaanyizibwa ku mafuta mu ggwanga ki UNOC n’ekya Petroleum Authority nabyo byakufuna obuwumbi 205.
Okuliyirira abaafiirwa ente mu bitundu by’obukiikakkono n’obuvanjuba okuli;
Teso, Acholi ne Lango kwakumalawo obuwumbi 1000. Nga Junuary 8, 2025 akulira ekitongole kya URA John Musinguzi yalangirira nga bwe baali bafunye abawi b’omusolo abapya 420,183 nga mu kiseera kino baali bawezezza omugatte gwa 4,881,983. Abawi b’omusolo abapya baasasula obuwumbi 59.01 okuva nga July okutuuka December wa 2024/25.