OMUSAJJA agambibwa okweyita mbega wa poliisi n'anyaga ebintu ne ssente ku bantu, akwatiddwa poliisi.
Hassan Kuteeka 38, omutuuze mu zzooni ya Musigula mu Rubaga mu Kampala, y'agambibwa okusangibwa ne kkaada ya poliisi nnamba { No. CID 006 } era ng'eraga nti ava mu kitongole kya bambega ekya poliisi.
Okumukwata, kyaddiridde obubbi bw'okusikambula ensawo obwaliwo mu January ku bitaala e Nateete okuva ku muvubuka ow'emyaka 17, era ng'abaakikola , bagambibwa okuba nti baali batambulira mu mmotoka ya Golf nnamba UAQ 950P.
Kitegeezeddwa nti eggulo, eyabbibwako ensawo , yeetegerezza emmotoka y'emu kwe kutemya ku poliisi ne bakwatako omuntu omu , gwe basanze ne kkaada eyo.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Recheal Kawala, agambye nti okubuuliriza n'okuyigga abalala bigenda mu maaso .