DDEREEVA wa bbaasi eyabadde yeesiwa amagengere nga bw’avuga abayizi akubye bbaasi mu kiwonko abayizi abaagibaddemu ne baddusibwa mu ddwaliro ng’omukka babaka mubake.

Abantu nga balonda ebimu ku bitabo by'abayizi ebyayiseemu mu bbaasi
Ddereeva ono atannamanyika mannya, yabadde avuga bbaasi nnamba UA 378DW nga yabadde atambulizaamu abayizi ba Exodus College School e Banda -Wakiso okukkakkana ng’agikubye mu luwonko mu kitundu kya Kyoga-Bbulabakulu.
Abadduukirize baamenye amadirisa okuyisaamu abayizi era ng’abayizi abasoba mu 50 be baakoseddwa.
Baddusiddwa mu ddwaaliro lya St. Joseph’s Hospital e Wakiso nga bataawa olw’obulumi obwabadde mu kifuba, abamu nga bamenyese amagulu nga n’abalala omukka babaka mubake.
Omu ku bayizi (amannya gasirikiddwa) yategeezezza nti baabadde bagenze ku “study tour” ya Geography mu bitundu by’e Kasenyi kyokka mu kudda ddereeva eyabadde abavuga n’agula omwenge era n’atandika okunywa nga bw’avuga.
Yagambye nti baatuuse mu bitundu by’e Nansana ng’emmotoka agivuga agizunza era bwe baasazeewo okumugambako, ye (ddereeva) yeegasse n’abasomesa abaabadde mu bbaasi ne bambalira abayizi bano nga babalangira obutawa bantu bakulu bitiibwa.
“Ekyaddiridde ddereeva ono kwongeza bidongo ng’atutangira okumugambako era abayizi abaabadde mu ssanyu lyabwe n ebasirika abamu ne batandika okusaba nga tebamanyi kiddako.” Omuyizi bweyayongeddeko.
Yannyonnyodde nti bwe baatuuse ku Kyoga e Wakiso ne baweta ku kkubo eridda ku ssomero, baafunye ku buweerero nga bagamba bawonye ekkubo lya Hoima Road, kyokka ebyembi ddereeva bbaasi n’agiwunzika mu kiwonko nga banaatera okutuuka ku ssomero.
Joseph Musaazi avuga bbooda e Wakiso yagambye nti yabadde atwala musaabaze mu bitundu by’e Banda, bbaasi y’abayizi kwe kumuyitako ng’eweenyuka ate ng’ekuba engombe ey’amaanyi era n’asalawo okugisegulira.
Ono nti yeewunyizza okugisanga ng’egudde mu luwonko kyokka era yategedde luvannyuma nti yabadde ya bayizi era n’ayita banne okulaba ogubadde, era bano baatuseewo ng’abayizi balaajanira munda.
DPC wa poliisi y’e Wakiso, Esther Kiiza yategeezezza nti bali ku muyiggo gwa ddereeva eyabadde avuga bbaasi kubanga oluvannyuma lw’akabenje, yadduse buddusi n’alekawo kondakita, abayizi n’abasomesa nga bataawa.
Kiiza yagambye nti bagenda kukunya n’abessomero lya Exodus bannyonnyole kulwaki tebaagoberedde biragiro bya minisitule ya byanjigiriza bye yateekawo ku baana ababa bagenda okulambula.