AB'ENZIKIRIZA y'Abasodookisi mu nsi yonna bajaguzza Amazuukira ya Yesu Kristo nga waakayita wiiki emu ng’enzikiriza endala zimalirizza.

Abakristu nga bakoleeza emisubbaawa
Ku Eklesia ya St Nicholas e Namungoona, Abasoddookisi beetabye mu kusaba kw'ekiro ky’amazuukira okwakulembeddwamu Ssaabasumba Jeronymos Muzeeyi nga baasoose kukoleeza misubbaawa akabonero akalaga okuzuukira ku ssaawa 6:00 ez'ekiro olwo ne bafuluma wabweru.

Ssaabasumba Muzeeyi ng'akulembeddemu Mmisa
Ssaabasumba Muzeeyi yasomye evangyeriyo ekwata ku Mazuukira oluvannyuma abakkiriza ne bayimba ennyimba eziraga obuwanguzi n'okuzuukira mu bafu nga bwe bawanika emisubbaawa