ABAZADDE basabiddwa okwagala n'okwagazisa abaana baabwe tekinologiya okutandikira wansi ku myaka emito, basobole okumwettanira nga bwebakula okusobola okuyamba eggwanga okukula.
Byogeddwa Dr. Steven Ssebbaale, Akulira ekitundu kya Human Capital Development mu kitongole Kya Uganda National Council for Science and Technology (UNCST), bwabadde omugenyi omukulu ku mukolo gw'okusiima amasomero agaakola obulungi mu mpaka z'amasomero ga siniya eza tekinologiya ez'okukozesa ennimi za kommpyuta okugonjoola ebizibu ebiriwo eza Inter-Schools Coding Competition ezaaliwo omwaka oguwedde, omukolo ogubadde ku ISBAT univasite ku Lugogo lwa Bypass mu Kampala ku lw'omukaaga.

Abayizi abeetaba mu mpaka za Inter-schooks Coding competitions ez'omwaka ovuwedde
Ssebbaale agambye nti, ensi kati etambulira ku misinde n'obumanyi bwa tekinologiya, nga Kya makulu nyo okutandika okumwagazisa abayizi okuviira ddala wansi bakule naye basobole okuyiiyiza eggwanga lyabwe eby'omugaso era ebirikulaakulanya, ng'era kati ne gavumenti etadde nyo essira ku saayansi ne tekinologiya olw'enkulaakulana y'eggwanga ery'enkya.
Neyeebaza ISBAt univasite, nga bano bebaategesi b'empaka za Inter schools Coding Competitions ez'omwaka guno 2026, olw'amaanyi gebataddemu okubangula bannayuganda mu magezi ga tekinologiya, nabasaba okugenda mumaaso kubanga eggwanga lisiima.

Abayizi ba Kings College Budo abaakwa wkyokubiri ne ceeke yaabwe ey'obukadde 5
Omuyizi Arthur Timothy Mungio okuva ku ssomero lya Standard High School e Zana abawanguzi b'empaka zino omwaka oguwedde ogwa 2025, ategeezezza nga bwebayize bingi era kati basobola kukola bingi ne tekinologiya, naalaga obwennyamivu olw'abazadde baabwe bangi abatawagira tekinologiya, nga kyekimu ku buzibu byebasanze, kuba oluusi babeera beetaaga kompyuta okuzikozesa mu nnimi za kompyuta eza Coding, wabula nga kizibu omuzadde okukkiriza okugulira omwanaawe owa siniya kompyuta ng'alaba ngeky'okwejalabya, naasaba abazadde okubawagira mu bya tekinologiya.
Akulira ensonga z'abayizi ku ISBAT univasite (academic Registra) Dr. Paul Giju agambye nti eby'okusoma ebiteereddwaamu tekinologiya byakuyamba nyo eggwanga Uganda okutuukiriza ebiruubirirwa byalyo ebya Vision 2040, nti era bbo nga ISBAT basanyufu okuwoma omutwe mu ntegeka eno, okubangula bannayuganda ku katale k'ensi yonna mu bya tekinologiya.

Abayizi ba Kinaawa High Kawempe abamu ku bafunye ebirabo olwokukola.obulungi mu moaka za inter schools coding Competition omwaka oguwedde
Abayizi abaanywa mu bannaabwe akendo mu mpaka zino omwaka.oguwedde wamu n'amasomero baweereddwa ebirabo ebibasiima ebibaweereddwa univasite ya ISBAT.
Amasomero okubadde; King's College Budo, Trinity College Nabbingo, Kinaawa High School Kawempe, Nabisunsa Girls, Kolo SS, Namirembe Hillside, Mengo SS, Iganga SS, Mbarara High, Kitante Hill schl, Royal College Namugongo, st. Joseph Naggalama, Bishops SS Mukono, Forest Hill College Mukono, Our Lady of Africa, Emma High schl, Lubiri SS, Naalya SS, n'abalala baweereddwa ebirabo ebibasiima olw'okukola obulungi mu mpaka zino omwaka oguwedde .
Essomero lya Standard High school Zana eranywa mu gannaago akendo ku mpaka zino omwaka oguwedde 2025 liweereddqa kavu wa Bukedde 10 n'ebirabo ebirala, Kings College Budo eyaakwata eky'okubiri ebuseeyo n'obukadde 5 wamu n'ebirabo ebirala, Pine International School eyakwata eky'okusatu nayo nebuukayo n'obukadde 2 n'ekitundu, amasomero amalala n'abayizi nebaweebwa ebirabo okusinziiira ku byebaakola obulungi mu mpaka ezo.
Oluvannyuma Dr. Paul Giju ku lwa univasite ya ISBAT atongozza empaka za Inter-schools Coding Competition ez'omwaka guno 2026 zebagenda okutegeka wansi wa minisitule ya tekinologiya, n'ategeezA nti zigenda kubaamu ebinnonnogo bya tekinologoya ebigenda okuganyula eggwanga