Abawanguzi
Omupiira (balenzi)
Mukono kings (6) 0-0 (5) Seroma
Omupiira (bawala)
Latifah Mixed 2-0 Seroma
Volleyball (balenzi)
Seroma
Volleyball (bawala)
Mt. St. Mary’s College Namagunga
Okubaka
Hamdan Islamic
Mukono Kings yeetisse empaka z’amasomero ge Mukono ez'omupiira ogw'ebigere ez’okusunsula oluvannyuma lw'okukuba Seroma Christian goolo 6-5 mu kakodyo k’okusimulagana peneti mu mupiira ogwanyumidde ku kisaawe kya St Joseph SS Naggalama.

Aba Hamdan Islamic nga bakutte ekikopo kyokubaka
Eddakiika 90 kyaweddeko nga tewali alengedde katimba ka munne wabula bwebaatuse mu peneti omukwasi wa goolo ya Mukono Kings n'ataasa emu ku peneti za Seroma ekyabayambye okuwangula ekikopo kyabwe ekyokusatu ekyomuddiringanwa.
Seroma yakoze ebyafaayo ku luzannya oluddirira olwakamalirizo bweyawanguddemu Dynami SS ssonde omu ku bakirimaanyi mu mupiira gw'amassomero e Mukono.
Seroma yatuusizza tiimu yabawala ku luzannya olwakamalirizo era nayo Latifah Islamic nebakubirayo ggoolo 2-0 bwebatyo nebavaayo nga banjala ngalo mu mpaka z’omupiira.
Wabula olugendo terwabamenyedde bwerere nga baasobodde okuwangulayo ekikopo mu muzannyo gwa volleyball owabawala.
Abawanguzi abalala kwabaddeko Mt. St. Mary’s College Namagunga eyawangudde volleyball mu bawala ate Hamdan Islamic newangula ekikopo ekyokubaka.

Aba Mt. St. Mary's College Namagunga abaawangudde volleyball mu bawala nga bajaganya
Steven Kitooke atwala ebyemizannyo mu district ye Mukono yatenderezza omutindo ogwayoleseddwa abayizi gweyagambye nti gwongedde okulinya. “ffe nga abategesi benpaka zamassomero ezeggwanga tuli bamativu nomutindo ogwoleseddwa ku bisaawe era singa tiimu zaffe zisigala bweziti ekikopo kyeggwanga kyakusigala Mukono”, Kitooke bweyagambye.
Amassomero 24 gaamaze dda okuyitawo okuzannya omutendera gwa zonal qualifiers ezigenda okubeerawo nga 15 okutuusa 19 omwezi guno ku ssomero lya St mark e kayunga. Zino zaakwetabwamu amassomero okuva mu district nnya okuli Mukono, Buikwe, Buvuma ne Kayunga. bano baakulwanira ebifo bisatu byokka ebiweebwa Mukono mu mpaka eza nationals.