Amawulire

Abagagga ba Kwagalana group basabidde bannaabwe abaafa

ABAGAGGA b’e kibiina kya Kwagalana Group bategese okusaba okwenjawulo nga bajjukira emyoyo  n’ebirungi abagenzi abaali ba mmemba baabwe bye bakoleera eggwanga n’ekibiina.

Godfry Kirumira Ssentebe wa Kwagalana Group ng'akulembeddemu banne mu kusabira emyoyo gy'abannaabwe abaafa
By: Joseph Mutebi, Journalist @New Vision

ABAGAGGA b’e kibiina kya Kwagalana Group bategese okusaba okwenjawulo nga bajjukira emyoyo  n’ebirungi abagenzi abaali ba mmemba baabwe bye bakoleera eggwanga n’ekibiina.

Abakwagala Group nga bali mu kusabira bannaabwe abaafa

Abakwagala Group nga bali mu kusabira bannaabwe abaafa

Okusaba kuno kwakulembeddwamu bannaddiini okuva mu nzikkiriza ssatu okuli abakulisitaayo abakulembeddwamu omulabirizi w’e Namirembe Bp Moses Bbanja, abakatuliki abadde Msgr Wynand Katende ate abasiraamu Sheikh Sulaiman Guggwa.

Ssentebe wa kwagalana Group Godfrey Kirumira ng'awayaama ne Bp. Bbanja

Ssentebe wa kwagalana Group Godfrey Kirumira ng'awayaama ne Bp. Bbanja

Abamu ku ba mmemba abaali ab’erinnya beebabadde bajjukira kwabaddeko maama w’omubaka wa Namibia mu Uganda era ssentebe waabwe Godfrey Kirumira,  Omumbejja Joyce Ruth Zawedde Nakimbugwe, Andrew Kassagga [Zzimwe] , Hajji Bulaim Muwanga Kibirige [BMK], Rajiv Ruparelia mutabani wa Sudhir Ruparelia,   eyali minisita w’e Mmengo Jolly Lutaaya, Francis Kakumba, Eriya Ssebunya [Kasiwukira], Jimmy Kiwanuka, Joy Kabonge, Mariam Matovu, Marth Kayiira Olavi Hafiz Matovu mutabani wa Hajji Youma , Ronald Kaddu Kitandwe, Umaru Ssengendo, John Bosco Ssenyomo, Francis Muwonge ne Ritah Mirembe.

Nabbaale omu ku bammemba ba kwagalana Group ne banne nga bali mu kusaba

Nabbaale omu ku bammemba ba kwagalana Group ne banne nga bali mu kusaba

Bp Bbanja asabye bannayuganda okumanya amakulu agali mu kusabira abafu essaala nti kikulu nnyo kubanga kye kyokulya kyokka kyabeera asigazza okufuna ebirala abeera yabireka ku nsi mwe abasigadde mu byeyagaliremu.

   “Mbebaaza mwenna ba mmemba ba Kwagalana okumaanya amakulu agali mu kudizza katonda nga muzimba amasinzizo ge okuli Kkanisa, Klezia n’emizikiti kubanga abangi balina ssente naye tebamaanyi nti embeera gye balimu katonda ye yasalawo okubafuula ab’enjawulo ku balala” Bwatyo Bp Bbanja bweyategezezza.

Abakwagalana Group nga bali mu kusaba

Abakwagalana Group nga bali mu kusaba

Ayongeddeko nti okumanya aba Kwagalana banjawulo ku bagagga abalala bwe basalawo be bagula ekifo kyabwe kino ekya Makindye Club eyali American Club basoosaawo mmisa era ne leero wemusazeewo okutegeka okusaba okujjukira emyoyo gya baganda bamwe abali aba Kwagalana ekyo kikulu nnyo.

Bp Bbanja atenderezza obukulembeze bwa ssentebe waabwe Godfrey Kirumira eyasazeewo nateekamu ssente ng’omuntu okwawukana ku kibiina okutegekka okusaba kuno nga buli kimu kiri ku biiru ye era nkukakkasa Kirumira togenda kwejjusa.

Abakwagalana group nga bali mu kusaba

Abakwagalana group nga bali mu kusaba

Msgr Wynand Katende yeebazizza aba Kwagalana okwanguyiza bannaddiini okukola omulimu gwabwe kubanga katonda akulembeza ekintu kimu mwagalane nga kyokka bwe mwakeera ku makya ne musalawo okutukolera ekibiina kyaba mmemba abaali awamu nga mu kulembezamu omulamwa gw’okwagalana buli kimu mujja ku kifuna kye munoonya mu nsi.

Sheikh Sulaiman Guggwa ku lwa basiraamu yagambye nti bwotegeka dduwa n’osabira omufu abeera alaba era nkukakasa nti BMK ne banne bonna be musabidde dduwa ne saala ze mubawadde leero yonna gye bali balaba ekigenda mu maaso era basanyufu nsaba mu kitwale mu maaso.

Abagagga ba Kwagalana nga bali mu kusabira bannaabwe abaafa

Abagagga ba Kwagalana nga bali mu kusabira bannaabwe abaafa

Guggwa yasabye abagagga bongere okulya nga ku ssente zaabwe bakomye okwerumya kubanga kyolyako ku nsi kye kikyo bw’ofa obeera osigadde kulya dduwa zokka. Yasabye abasajja abalina obusobozi bazaale abaana abawera basobole okuleeka abanabasabira nga bafudde nga bawera.

 “Obusiraamu bugamba nti abantu abaweera 40, bwe bakungaana ne bakusabira edduwa buli kimu Allah kyabadde akubanja akireka bulesi n’osobola okutereera mu janah n’olwe nsonga eyo bannange ba mmemba ba Kwagalana mugende mu maaso n’okusabira nga abantu bano dduwa ne saala okusinziira mu nzikkirizayo” Bwatyo Sheikh Guggwa bweyategeezezza.

Sheikh Guggwa wakati ng'abuuza ku bannadiina abalala

Sheikh Guggwa wakati ng'abuuza ku bannadiina abalala

Omubaka wa Namibia mu Uganda Godfrey Kirumira era ssentebe waabwe yagambye nti ba mmemba baabwe bangi aba maanyi mu ggwanga bafudde era ye nsonga lwaki twasooka ne tutya okutegeka okusaba okutuusa mmemba waffe John Bagambe bweyategezezza nga bwamaze ekiseera ng’aloota abamu ku bagenzi bano nga bamusaba okutegeka okusaba era nakkiriza ye nsonga lwaki nasazeewo atekamu ssente zonna  okuteegeka omukolo nga sikozesseza ssente za kibiina ba mmemba baffe yonna gye baali basobole okufuna emmere ey’omwoyo gye baali mu ggulu.

     “Okuva lwa leero tusazeewo nga ekibiina tugenda kutegeka nga okusaba kuno buli mwaka nga April/19. Nga bannaddiini okuva mu nzikkiriza ez’enjawulo bakulembeeramu buli nzikkiriza omwaka nga ku luno tutandiise n’abakulisitaayo, omwaka ogujja 2027 tugenda kukulemberwamu ba katuliki ate 2028 basiraamu bwetutyo okutuusa lwe tunamalayo enzikkiriza zonna wano mu maka gaffe aga Kweagalana agayitiibwa Makindye Club” Bwatyo Kirumira bweyategezezza.

Okusabira emyoyo gy'abagenzi mu kwagalana Group

Okusabira emyoyo gy'abagenzi mu kwagalana Group

Kirumira yeeyamye okuwaayo obukadde 15, 200,000/- okuyambako okuzimba ennyumba y’obulabirizi e Namirembe. George William Kajoba ye nawaayo obukadde 15.

John Bagambe eyakuliddemu okuteekateeka okusabira abagenzi yagambye nti amaze ebbanga ng’aloota abamu ku ba mmemba baabwe abafa nga bamusaba baabasabire ku kitambiro kya mmisa okutuusa lwe yategezzako Kirumira ne ba mmemba abalala ne bakiteeka mu nkola.

Abamu kuba mmemba abaabaddeko kwabaddeko Suzan Kirumira, Ephraim Ntaganda, John Bagambe, Fredrick Kayiira, Teopita Nnabaale , Agnes Babirye, Ssalongo ne Nnalongo Lutalo Bbosa,  James Bakaluba, Moses Bagalya, Tom Kitandwe, omulamuzi Joseph Mulangira, Winnie Mabirizi, Joseph Yiga, Ben Kavuya, Dick Kizito n’abalal