“Kigozi oli mukwano gwange nnyo, naye ku kino abasuubuzi kye bambulidde, nsazeewo nkuyimirize ku lukiiko olutambuza pulojekiti y’okuzimba akatale, CAO atuwe omuntu omulala anaasobola okutambula pulojekiti nga tagitadde mu nkwawa ze.”
Bwatyo RDC wa Wakiso, Justine Mbabazi bweyategezezza ng’agoba James Kigozi Musaazi akulira eby’obusuubuzi mu disitulikiti ye Wakiso (commercial officer) ku kakiiko akakola kuntegeka ezizimba akatale akapya nti basuubuzi kumulumiriza kuteeka pulojekiti mu nkwawa ze.

Rdc Mbabazi ng'alambula akatale. Ku kkono ye Kasozi akulira abasuubuzi ne ssentebe wa Wakiso Town Council Fredson Mukalazi.
Mbabazi okutuuka okuyimiriza Kigozi kyaddiridde olukiiko Mbabazi lwe yayise nga lwa basuubuzi n’abakozi ba Gavumenti e Wakiso, abasuubuzi gye baayabirizza Kigozi nti yagaana okukola kunsonga zaabwe nga tebannaba kusengula bintu webagenda okuzimba akatale.
Yalabudde akulira abakozi ku disituliikiti e Wakiso, Jude Mark Bukenya obutateeka bakozi bagenda kureeta muzannyo mu pulojekiti eno kuba nti bajja kutekebwako omukono ogw’ekyuma.
Vincent Kasozi, ssentebe w’abasuubuzi e Wakiso mu kibiina kya Wakiso Traders Association, yagambye nti ensonga eziruma abasuubuzi Kigozi baazimugamba naye teyafaayo kuziwulirza nti ye nasalawo kukola bibye.
Kasozi yagambye nti abasuubuzi baasaba basengulwe babafunire ekifo ekirara webateeka emmaali yaabwe nga bwebazimba akatale, kyokka nti Kigozi n’abalagira basigale mukitundu ekimu ekya katale olwo bakontulakita bakole mubitundutundu.
Kigozi annyonnyola;
Ye Kigozi yategezezza nga bweyatekawo empapula abasuubuzi kwebalina okuteeka emikono nabakulu ku disitulikiti (consent forms) kyokka nti abasuubuzi batono beyafuna ekintu ekyamwennyamiza.
Yayongeddeko nti yagenda mu bbanka ya centenary e Wakiso nebamuwa olukalala lw’abasuubuzi abaali baasasula nga mukino nti mulimu abalala abetobese mubano nga nabo babanja kyokka nga kulukalala tebaliiko, era nawera nti tebagenda kukkiriza muntu yenna kwesiba mu basuubuzi.

Ssentebe Jumba ng'annyonnyola
Yagambye nti kino aba disitulikiti balina okukikola obutasukka mwezi kisobozese kontulakita wa Techno 3 okukola emirimu gye mu bbanga ery’omwaka ogumu eryaamuwebwa akatale okuba nga kawedde.
Kigozi w’atuteeka okukolera bulabe bwennyini;
Edirisa Jjumba nga ye ssentebe w’akatale ke Wakiso, yagambye nti balina n’ettaka webasobola okusengukira, kyokka nti Kigozi ne ttiimu ye bagamba nti bwebaba tebakkiriza kukolera kuludda lw’akatale olumu, bagende nti mu lutobazi okumpi ne bbaala ya KR bakolere eyo.
Yayongeddeko nti abasuubuzi baasonda ssente zaabwe okwezimbira, obukadde 850 kyokka pulojekiti nebaremerera nga mukino disitulikiti teyavaayo kubayamba.