BANNAMATEEKA ba Dr. Kiiza Besigye babbinkanye n’omuwaabi wa Gavumenti nga bamusoya ebibuuzo ku nsonga z’okukweka abajulizi mu musango gw’okulya mu nsi olukwe gw’abbinkana nagwo.
Besigye ku musango guno aguliko n’omuyambi we Obeid Lutale wamu n’omujaasi Capt.Denish Oola era guwulirwa omulamuzi Emmanuel Baguma owa kkooti enkulu ng’abasibe bano baakomyewo mu kkooti oluvanyuma lwa bannamateeka ba Besigye okusaba kkooti ebakkirize okukunya omuwaabi wa Gavumenti, Joseph Kyomuhendo ku nsonga y’okukweka abajulizi.
Okubbinkana kuno kwabadde wakati wa bannamateeka ba Besigye okuli Fred Mpanga ne Erias Lukwago nga baasoyeza Kyomuhendo ebibuuzo ku lwaki baagala okukweka abajulizi bano.
Kyomuhendo yagambye nti enkola eno kati ekolebwa mu nsi yonna era ne mu Ssemateeka wa Uganda waliwo we bakkirizibwa okukikola era nga mu kkooti enkulu ewozesa emisango egiri ku mutendera gw’ensi yonna bagyeyambisa wadde nga munnamateeka Mpanga kino yakiwakanyiza n’agamba nti tekiriiyo mu Ssemateeka wa Uganda.
Yayongedde nti olw’ekikula ky’omusango guno ogw’okulya mu nsi olukwe beetaaga okukweka abajulizi okubawonya okufuna obulabe eri abantu b’abavunaanibwa era n’abavunaanibwa bajja kufunamu nnyo kubanga wagenda kubeerawo obwenkanya era n’obujulizi bwabwe bujja kubeera bwesigika.
Wabula okukunya Kyomuhendo tekwasobodde kumalirizibwa era omulamuzi Baguma n’akwongeraayo okutuusa nga May 06, 2026.