BABBULOOKA beesomye okumalawo ettaka lya Dr. Apollo Kaggwa ly’amaze ebbanga ng’akaayanira n’abeebibanja. Ennyumba ebadde esigaddewo ku ttaka yasaanyiziddwaawo kati ekifo kisigadde kyererezi. faamu ewerako yiika 232,
tekukyali kantu konna. Yalinako ente ezisoba mu 100, enkoko ze yali alundira mu butimba (Cage) ezisoba mu mitwalo etaano, ekifo we yali ayaluliza ebyennyanja,
ekibira ky’emiti, yiika z’olusuku ezisoba mu 10 ssaako yiika z’omuddo gw’ebisagazi byonna byasaanyizibwawo. Wiiki ewedde ennyumba eyali esigadde ku ffaamu nayo yaweddewo kati ku ttaka tekukyaliko wadde kya bugagga kye okugyako ttaka n’ebyapa by’alina.
Ettaka lino erimaze emyaka nga likaayanirwa bannannyini bibanja ne Dr. Kaggwa Apollo, lisangibwa ku byalo okuli; Kakunyu, Nsekwa, Mabombwe ne Musisi mu Muluka gw’e Namusera mu Ggombolola y’e Mande okumpi n’akabuga k’e Kakiri
mu Wakiso. Litudde ku bulooka 248, ku poloti 09, 49, 73, 75, 76 ne 77. Nga March 19, 2026, kkooti yawadde Dr. Kagwa ekiragiro ekyasiddwaako omukono gw’omumyuka w’omuwandiisi wa kkooti Umar Faisal Mulalira mu musango ogwawulirwa omulamuzi Dr. Grace Flavia Lamuno kkooti n’eragira nti, embeera esigale nga bw’eri. Dr. Kaggwa yeekubira enduulu mu kkooti ng’awaabira Lydia Nambogo n’abalala 11 era bamaze ebbanga nga battunka. Kkooti yalagidde nti, embeera esigale nga bw’eri okutuusa
ng’omusango oguli mu kkooti enkulu nnamba MA. NO - 057/2026 n’omusango omulala No. 011 of 2026 gisaliddwa.