Amawulire

Putin ayingidde mu by’okukomya olutalo lwa Iran

PUTIN asisinkanye ekibinja kya Iran ekyakulembeddwa minisita waayo ow’ensonga z’ebweru okubawa ku magezi ku by’okukomya olutalo lwayo ne America.

Putin (ku ddyo) ng’ayaniriza minisita wa Iran, Araghchi mu kibuga Saint Petersburg.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

MOSCOW, Russia
PUTIN asisinkanye ekibinja kya Iran ekyakulembeddwa minisita waayo ow’ensonga z’ebweru okubawa ku magezi ku by’okukomya olutalo lwayo ne America.
Iran yagenze n’ensonga ttaano ez’amaanyi z’eyagala Putin abayambe akkirizise Trump bave mu lutalo. Ensonga zino kuliko;
lAmerica esasulire bye yayonoonye mu Iran.
lOkugiwa obweyamo nti, teriddamu kulumbibwa.
lEggyewo n’emmeeri zaayo ezitangira eza Iran okutwala amafutamu butale.
lOkukkiriza nti akagolomoloka Strait of Hormuz ka Iran eraerina obuyinza okukakozesa ngabw’eyagadde nga y’esalirawoamawanga amalala agakakozesa.
lAmerica, Yisirayiri n’ensi yonnabave ku kwogera ku nukiriya waIran. Bwe kiba kyogera ku butakolabbomu ya nukiriya, awo boogerenaye bwe kiba bagiragira eve kubya nukiriya, awo bagiveeko kubabo bamukozesa ku byakunoonyereza kwa ssaayansi.
Ekya nukiriya, kye kikyasinze okutabula Iran ne America nga Pulezidenti Donald Trump agamba nti, tasobola kukkiriza Iran kukola bbomu za nukiriya sso nga nayo
Bya LAWRENCE KIZITO
AKAKIIKO k’ebyokulonda kategese okuwandiika abakozi 142,500 okukola mu kalulu ka bassentebe b’ebyalo, emiruka n’obukiiko bw’abakyala, oluvanyuma lwa Gavumenti okukakasa nga ssente obuwumbi 56 n’obukadde 900 bwe zaalabise okutegeka akalulu kano.
Okusinziira ku muwandiisi w’akakiiko k’ebyokulonda, Richard Kamugisha akakiiko keetegefu okutegeka akalulu kano, era ebbula lya ssente lye libadde likyabasibye nga ke zaafunise, y’essaawa okutandika emirimu.
Wadde ssente zino minisitule y’ebyensimbi tennazibawa, akakiiko kaatandise okwetegeka kuba kaafunye obukakafu nti zigenda kujja.
Mu nteekateeka eziriwo, mwe muli okuwandiika abakozi 142,500 okuyamba akakiiko okuteekateeka akalulu kano mu byalo 71,250 okwetooloola eggwanga.
Kamugisha yagambye nti abakozi bano be bagenda okukola emirimu omuli okutimba enkalala, okukakasa abalonzi, okulondesa, okulangirira ebivudde mu kulonda ku kyalo, n’emirimu emirala mingi egy’eby’okulonda.
Kamugisha era yawolerezza ssente ze baasaba okutegeka akalulu kano, ng’abantu abamu bagamba nti nnyingi ate ng’akalulu ka mu mugongo. Yagambye nti olunaku okulonda lwe kubaayo, si lwe kuba kutandise, kuba waliwo emirimu egikulembera mu buli kyalo okwetooloola eggwanga, nga mulimu okusasula abakozi abayitirivu, okukubisa enkalala z’abalonzi, okutambula, n’ebirala bingi.
Abakozi abanaakola mu kalulu kano basuubirwa okuwandiikibwa omwezi ogujja n’akakiiko kasuubirwa okulangirira ennaku z’okulonda essaawa yonna.
Okulonda
kwa LC
kugguse
n’emirimu 142,000
egamba nti, si z’eweesa eri mu kunoonyereza ku bya nukiriya birala omuli eby’obujjanjabi n’amasannyalaze by’etayinza kuvaako.
Eggulo minisita wa Iran ow’ensonga z’ebweru Abbas Araghchi yasisinkanye Pulezidenti wa Russia, Vladimir Putin nga ye mukwano gwa Iran, abeeko ky’akola okukomya olutalo mwe baamutikkidde n’obubaka obwo abutuuse ewa Trump.
Abbas yeetaze ku wiikendi nga bw’ava mu Iran n’adda e Pakistan awabeera enteeseganya n’adda mu Oman bwe bagabana akagolomolo gye yavudde okudda e Pakistan n’asala okudda mu kibuga St. Petersburg mu Russia gye yasisinkanye Putin.
Mu Oman ne Pakistan yabadde asisinkana abamu ku banene mu Gavumenti zaayo okubakwataganyiza ku by’enteeseganya ezaagootaanye nga buli ludda lwagala ebyalwo bye biba bikkirizibwa.
Abbas yategeezezza amawulire ga IRNA mu Iran nti, mu mawanga gy’abadde yeetala nga tannagenda Russia, yabadde abasaba birowoozo ku ngeri gye bayinza okuteesaamu ne America olutalo luggwe. Oman ne Pakistan ba muliraano ne Iran era Oman ye yasooka okubatuuza ng’olutalo terunnatandika ate kati Pakistan y’ebatuuza.
Trump ku Ssande yagaanyi ekibinja kya America ekyabadde kigenda e Pakistan okuteesa ng’agamba nti, abateesa ku ludda lwa Iran beeyawuddemu.Nti waliwo abaagala okuteesa kubeerewo n’abatabyagala kw’ogatta ne Gavumenti yaabwe eterina agikulembera ekiremesezza enteeseganya. Yamalirizza agamba nti bwe banaamala ebibasumbuwa, banaabakubira ne bazzaawo okuteesa.
Ebyasooka okulemesa enteeseganya kwaliko buli ludda okuli America ne Iran buli omu ayagala ebyalyo bye biba biyitamu.
Kati ekisuubirwa ye Putin okukubira Trump babeeko bye boogera ku by’okukomya olutalo lwa Iran. Kyokka ekisuubirwa ekisooka kiri nti Iran erabika okuseeseetuka n’ekkakkana ku nsonga ettaano n’ekkiriza okuwaayo ekirungo kya uranium kasita kibeera nga kitwalibwa Russia.
Ekibalo ekyo Putin alabika okukiggusa okukomya olutalo luno nga kiyamba America kuba naye ayagala Trump amukolere ekibalo ekimukomeza olutalo lwa Ukraine nga kisinga kuyamba Russia.