Amawulire

Okulonda kwa LC kugguse n’emirimu 142,000

AKAKIIKO k’ebyokulonda kategese okuwandiika abakozi 142,500 okukola mu kalulu ka bassentebe b’ebyalo, emiruka n’obukiiko bw’abakyala, oluvanyuma lwa Gavumenti okukakasa nga ssente obuwumbi 56 n’obukadde 900 bwe zaalabise okutegeka akalulu kano.

Putin (ku ddyo) ng’ayaniriza minisita wa Iran, Araghchi mu kibuga Saint Petersburg.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

AKAKIIKO k’ebyokulonda kategese okuwandiika abakozi 142,500 okukola mu kalulu ka bassentebe b’ebyalo, emiruka n’obukiiko bw’abakyala, oluvanyuma lwa Gavumenti okukakasa nga ssente obuwumbi 56 n’obukadde 900 bwe zaalabise okutegeka akalulu kano.
Okusinziira ku muwandiisi w’akakiiko k’ebyokulonda, Richard Kamugisha akakiiko keetegefu okutegeka akalulu kano, era ebbula lya ssente lye libadde likyabasibye nga ke zaafunise, y’essaawa okutandika emirimu.
Wadde ssente zino minisitule y’ebyensimbi tennazibawa, akakiiko kaatandise okwetegeka kuba kaafunye obukakafu nti zigenda kujja.
Mu nteekateeka eziriwo, mwe muli okuwandiika abakozi 142,500 okuyamba akakiiko okuteekateeka akalulu kano mu byalo 71,250 okwetooloola eggwanga.
Kamugisha yagambye nti abakozi bano be bagenda okukola emirimu omuli okutimba enkalala, okukakasa abalonzi, okulondesa, okulangirira ebivudde mu kulonda ku kyalo, n’emirimu emirala mingi egy’eby’okulonda.
Kamugisha era yawolerezza ssente ze baasaba okutegeka akalulu kano, ng’abantu abamu bagamba nti nnyingi ate ng’akalulu ka mu mugongo. Yagambye nti olunaku okulonda lwe kubaayo, si lwe kuba kutandise, kuba waliwo emirimu egikulembera mu buli kyalo okwetooloola eggwanga, nga mulimu okusasula abakozi abayitirivu, okukubisa enkalala z’abalonzi, okutambula, n’ebirala bingi.
Abakozi abanaakola mu kalulu kano basuubirwa okuwandiikibwa omwezi ogujja n’akakiiko kasuubirwa okulangirira ennaku z’okulonda essaawa yonna.