Amawulire

Ababadde bateekateeka okulumba essundiro ly'amafuta bakwatiddwa

POLIISI ye Katwe ekutte abavubuka 3 abagambibwa okutigomya abantu mu kitundu kino n'ebijambiya.

Abavubuka abakwatiddwa ate ku kkono z'ejjambiya ezisangiddwa nabo
By: Sulaiman Mutebi, Journalist @New Vision

POLIISI ye Katwe ekutte abavubuka 3 abagambibwa okutigomya abantu mu kitundu kino n'ebijambiya.

Kigambibwa nti bano babadde bateekateeka kulumba sundiro ly'amafutu erya Nesta ku luguudo lwe Salaama mu parish ye  Salaama, mu gomboloola ye Makindye mu district ye Kampala.
Omwogezi wa poliisi mu kampala n'emirwano Sp Kawala Racheal agamba nti police yamanya ku lukwe lwa bano ne basula enkessi eyavirideko okukwata abantu 3 ne gyambiya 4. Abakwate bakumirwa ku Poliisi ye katwe ng'okunonyerezza bwekugenda mu maaso