Amawulire

Abantu 8 abagambibwa okwerimbika mu butembeeyi ne babba amasimu mu jjaamu babakutte

Abantu 8 abagambibwa okwerimbika mu butembeeyi ne babba amasimu n'okusikambula ebintu okuva ku mmotoka mu jaamu, bakwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa leero nga bukya.

Abantu 8 abagambibwa okwerimbika mu butembeeyi ne babba amasimu mu jjaamu babakutte
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abantu 8 abagambibwa okwerimbika mu butembeeyi ne babba amasimu n'okusikambula ebintu okuva ku mmotoka mu jaamu, bakwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa leero nga bukya. 

Kibadde Punjani Wampeewo, electoral  Commission, ku bitaala bya Jinja Rd, mu Kampala. 

Kigambibwa nti bano beefuula abatembeeyi ne basika obutaala ku mmotoka, obulabirwamu, baampa n'ebintu ebirala nga kuno nti kwe bagasse okubba amasimu n'obusawo. 

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Recheal Kawala, agambye nti bakuumi Rwanda ku poliisi ya Jinja Rd ng'okubasunsulamu, kukolebwa