KCCA evuddeyo ku bucaafu mu katale k’e Ggaba n’eyimiriza abasiika ebyennyanja n’okufumba emmereokutuusa nga balongoosezza we bakolera. Kyaddiridde amyuka akulira KCCA, Benon Kigenyi n’avunaanyizibwa ku byobulamu, Dr. Sarah Zalwango okulambula akatale kano, ne basanga nga kacuuma naddala we batundira ebyennyanja n’okubisiika. Baasanze wajjudde kasasiro nga kw’otadde n’okucuuma, ekyabawalirizza okubayimiriza mbagirawo.
Baasanze nga ne butto gwe bakozesa addugala ne babalabula nti, yandirwaza bakasitoma be babiguza.
Kigenyi yagambye nti tebayinza kukkiriza batunda byakulya kukolera mu kifo ekicaafu kuba basobola okusaasaanya endwadde, kwe kubayimiriza okumala akaseera. “Kyewuunyisa nti abantu abatunda ebyokulya ng’ebyennyanja ate bakolera mu kifo ekicaafu.
Bw’olaba butto abasiika gwe bakozesa, yeesisiwaza kuba addugala. Oba bino biki bye baliisa abantu?” Kigenyi bwe yennyamidde. Yagambye nti baatutte butto eyasangiddwa mu makalaayi okumwekebejja okuzuula oba tebalina bye batabikamu okusinziira ku
ndabika ye. N’agamba nti, KCCA eruubirira okulaba nga etangira obucaafuobuyinza okuvaako endwadde eziyinza okubalukawo omuli ekiddukano, omusujja gw’omu byenda n’endala.
Akulira ebyobulamu mu KCCA, Dr. Sarah Zalwango yagambye nti, e Ggaba baazudde nti waliyo abakung’aanya kasasiro ne bamusuula okumpi n’olubalama lw’ennyanja nga beekwasa nti bagoba mazzi, ekintu ekikyamu. Kino kyalabiddwa ku
batunda enku. Amyuka ssentebe w’abasuubuzi, Dirisa Walusimbi Gamwero yagambye nti, okusobola okukuuma obulungi obuyonjo, KCCA erina okubazimbira akatale ak’omulembe. Wabula Kigenyi yamugumizza nti, enteekateeka z’okuzimba akatale ak’omulembe zigenda mu maaso nga bali mu kunoonya kkampuni egenda okukola omulimu guno.Kyokka yabawadde amagezi baleme kulinda kubazimbira katale kapya wabula, beeyonje nga n’enteekateeka z’okubazimbira bwe zikolebwako.