ABANTU abaliko obulemu okuva mu bitundu eby’enjawulo badduukiriddwa abazirakisa ababawadde obugaali okusobola okubawewulako mu ntambula n'enkola y'emirimu gyabwe.
Obugaali buno bwabaweereddwa ekitongole kya Ramathan Foundation ng’omukolo gwabadde ku kitebe kyabwe e Kigo Kitiiko.
Abaaweeredda obugaali baavudde mu bitundu bw'eggwanga eby’enjawulo era omukolo gw'okutongoza okugaba obugaali buno gwakulembeddwaamu Janat Ssebunya, addukanya ekitongole kino oluvannyuma lw’eyali omuyima waakyo Moses Kibirige Ssebunya okufa gye buvuddeko.
Ssebunya yategeezezza nti, okudduukirira abali mu bwetaavu naddala abaliko obulemu, nkola ya kibiina kyabwe era baakugenda nayo mu maaso. Yabasabye okubukozesa obulungi n’okubukuuma era baleme kukemebwa kutunda bugaali buno.