NGA ab'ebyobulamu baakafuna essuubi mu ddagala ly'empiso ya Lenacapavir,(LEN) eriyamba okuziyiza akawuka ka ssiriimu ng'emu ku nkola zebakulembezza mu lutalo lw'okumalirawo ddala obulwadde buno mu ggwanga nti omwaka gwa 2030 wegunaatuukira,waliwo okusoberwa mu Greater Masaka olw'omuwendo gw'abapya abakwatibwa akawuka okulinnya buli olukya.
Dr.Faith Nakiyimba omu ku bakulira eby'obulamu mu kitundu kino yakawangamudde bwe yagambye nti mu myezi mukaaga gyokka egiyise bakazuula abantu abapya abakwatiddwa ssiriimu abawerera ddala 8,154 kyeyagambye nti ssi kyabulijjo.
Dr.Nakiyimba yabadde mu nsisinkano n'abaamawulire abasaka ag'ebyobulamu wansi w'ekitongole ki Health Journalists Network-Uganda (HEJNU),ku Court Lane Hotel e Masaka, nannyonyola nti ku muwendo guno kuliko abakyala 4,814,abaami 3,112 ate nga 124 baana abali wansi w'emyaka 15.
Yannyonyodde nti ssiriimu okumaamira ennyo mu kitundu kivudde ku bifo ebiwerako ebisimbamu emmotoka ezitambuza eby'amaguzi okuva n'okugenda mu mawanga agali ku muliraano n'emyalo emingi ku nnyanja Nalubaale abantu gyebatafuddeyo nnyo kwekuuma.
Wabula yategeezezza nti Greater Masaka yemu ku bitundu ebyagabanye ku kitereke ky'eddagala lya Lenacapavir eriweza ddoozi 9,600 eryakaletebwa mu ggwanga.

Dr Nakiyimba akulira eby'obulamu e Masaka ng'annyonnyola
Wano yalaze essuubi ku ngeri abantu gye bajjumbiddemu empiso eno mu malwaliro okuli Masaka Regional Referral Hospital eryafunye ddoozi 40, Kasensero Health Centre III ddoozi 30 , Bukakata Health Centre III ddoozi 40,Sembabule Health Center III ddoozi,n'agumya nti entekateeka weeri okwongera okubunyisa mu bitundu eby'enjawulo.
Kyokka yalaze okutya alw'abamu ku bantu abayinza obutaddamu kufaayo kwetangira kawuka ka ssiriimu n'enkola ezibaddewo nga beyinudde empiso eno n'abalabula obutalegeza nti kubanga eggwanga terinafuna muwendo gwa ddagala lino limala.
Omusawo Robert Bbossa owa Masaka Regional Biomedical Prevention Specialist at the Infectious Diseases Institute (IDI) yayongeddeko nti obuvumbuzi bw'empiso eno emala emyezi omukaaga mu mubiri, ttafaali ddene mu kumalawo okusasaana kw'akawuka nti singa abantu banagoberera emitendera gyalyo emituufu.
Yannyonyodde nti empiso eno okubibwa ku lubuto oba ku bisambi naddala ku bakazi ab'embuto, ng'ewerekerwako empeke bbiri ezimiribwa ku lunaku olusooka n'endala bbiri enkeera nti kyokka oluvannyuma lw'emyezi omukaaga omuntu taddamu kumira mpeke zino afuna mpiso yokka,kyokka yakaatirizza nti enkola eno tegema ssiriimu wabula ekola gwa kuziyiza gwokka.