OMUNTU omu agambubwa okuba omubbi w'emmundu, akubiddwa amasasi agamusse, abalala 2 ne badduka, bwe babadde bagezaako okubba omusuubuzi.
Bibadde mu zooni ya Ssemwogerere mu Nakawa Division mu Kampala, ababbi 3 bwe bafumbikirizza omusuubuzi abadde atambula ne mukyala we ku Mukasa rd, ne babeebasa wansi ne bababbako essimu, wallet n'ebintu ebirala.
Era kigambibwa nti mu kubawondera, omu ku bagambibwa okuba ababbi atemera mu myaka nga 25, akubiddwa amasasi agamuttiddewo .
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Recheal Kawala, agambye nti emmundu ekika kya SAR , essimu 4, laptop, ekiso ky'emmundu, ekisosonkole ky'essasi n'ebirala, bizuuliddwa mu kifo era ng'omulambo gutwaliddwa mu ggwanika e Mulago , okugwekebejja ng'okubuuliriza kukolebwa.