Amawulire

Maneja wa Kafeero agambye nti abaana ba Kafeero be yalabako ng'akyali mulamu bawera 17!

Yagambye nti Kafeero we yafiira, abaana abo yali amanyi nti babe nti wadde waliwobe yeegaana abatali kw’abo baakebeddwa ate waliyo n’abataakebeddwa kyokka ngaabakazi baabamuwa era n'abakkiriza.

Maneja wa Kafeero agambye nti abaana ba Kafeero be yalabako ng'akyali mulamu bawera 17!
By: Emmanuel Ssekaggo, Journalist @New Vision

EYALI maneja wa Paul Kafeero aleese ebyama n’alaga engeri gye yakwanangamu abakazi be yazaalamu abaana abangi n'abakkiriza ate abalala n’abeegaana kuno ssaako engeri Bisirikirwa gye yagobaganyangaamu abakazi abaleeteranga bba abaana.

Eyali maneja wa Kafeero, Kizito mu mujoozi gwe mwe yayimbiranga.

Eyali maneja wa Kafeero, Kizito mu mujoozi gwe mwe yayimbiranga.

Ssaalongo Godfrey Kizito nga yali maneja wa Kafeero yanyumirizza Bukedde olugendo lw’obulamu bwe ne Kafeero n’akoona ne ku nsonga z’abaana be ezifuuse nnamulanda.

 

Yagambye nti Kafeero we yafiira, abaana abo yali amanyi nti babe nti wadde waliwo be yeegaana abatali kw’abo baakebeddwa ate waliyo n’abataakebeddwa kyokka nga abakazi baabamuwa era n'abakkiriza.

 

Kizito eyasangiddwa ku kyalo Ggera ekiri mu ggombolola y’e Nabweyo mu disitulikiti y’e Kassanda, yategeezezza nti ng’oggyeeko okubeera maneja wa Kafeero, yali omu ku baasunanga endongo mu kibiina kyabwe ekya Kulabako Guitar Singers.

Kafeero ng'ayimba ne Khalid Lukwago Kapaapaali.

Kafeero ng'ayimba ne Khalid Lukwago Kapaapaali.

Okukakasa nti yayimbanga ne Kafeero, yatuggyiddeyo yunifoomu mwe baayimbiranga n’agyenaanika n’ategeeza nti yagitereka nga ekijjukizo.  Yaggyeeyo ne alubaamu omuli ebifaananyi ebimu ebyabakubwanga bwe baabanga mu bivvulu, ssaako ebya bakyala ba Kafeero ab’enjawulo be yaganzanga.

 

Mu be yatulaze mwe muli gwe yategeezezza nti ye Immaculate Namata eyali abeera e Wobulenzi ng'ono y’azaala Tonny Kafeero ne Mark Kafeero. Bano be bamu ku baana abaawanduddwa DNA eyasomeddwa ku Lwokuna lwa wiiki ewedde.

 

Omukyala omulala gwe yatulaze yagambye ye Betty Nabukenya nti era yamuyimbako ne mu luyimba olumu, kw’ossa Sarah Kizigo naye eyali ebeera e Wobulenzi. Nti Sarah ono yali asibye Kafeero omwana ow'obuwala wabula ne bazuula nti si y’amuzaala. 

 

Omwana ono yali muwala ng’aweza omwaka gumu, era nti Kafeero bwe yamwegaana, nnyina n’amutwala ewa kitaawe omutuufu. Kizito agamba Kafeero yeegaana abaana babiri bokka oyo ne Buladina.

 

Yagambye abaana ba Kafeero be yalabako baali wakati wa 17 ne 18 nga bano bonna bannyaabwe baabamuleetera akyali mulamu era nga yabakung’aanyizanga mu maka g’e Kajjansi. Kyokka oluvannyuma abamu yabaggyawo n’abatwala e Masaaba.

 

Yakoonye ne ku ky’ennyumba ya Kafeero ey’e Kajjansi gye yagambye nti Kafeero yali yagikwasa omwana w’Omuzungu, wabula bwe yaddayo ebweru, oluvannyuma n’agiteekamu Bisirikirwa. Wabula kigambibwa nti wano Bisirikirwa yakkirizaawo abaana bana bokka be yasanga ne Kafeero.

 

Agamba y’omu ku baawerekera Bisirikirwa ne Kafeero mu ddwaaliro nga bagenda okubakebera ku by’okuzaala nti omusawo n’azuula nti tebasobola kuzaala. Ku ky’abaana 21, DNA be yasudde ebbali, Kizito agamba ku bano omukaaga be baaleetebwa ng’afudde nga n’abasinga bannyaabwe obuyambi baabunonanga ku Holly Wood e Katwe.

 

Yawakanyizza abagamba nti oluyimba lwa ‘Driver’ mw’ayimbira ku baana abasatu nti kye kiraamo kye n’agamba nti yaluyiiya mu 1993 era omwaka gwe gumu mwe yalufulumizanga mu kiseera ekyo yalina abaana basatu, be yayimbako.

 

Yagambye bwe wabaawo abaana abali waggulu w’emyaka egyo abo tebaba ba Kafeero, wabula oluvannyuma lwa 1993, alina abaana be yazaala. Abamu baavuddeyo ate abalala tebazze mu nkaayana zino.

 

Okugeza, waliwo omwana gwe yazaala e Masaka era Kafeero n’agulira nnyina ekibanja e Ssembabule nga ye omukyala abeera Kabonera. Wabula omukyala yagaana okuleeta omwana olw’ebyo ebyaliwo n’asaba abali mu nsonga z’okuzuula abaana ba Kafeero oyo obutamwerabira.

 

Kizito yasabye abaana ba Kafeero okuva mu nkaayana batabagane n’abasaba bawulirize oluyimba lwa kitaabwe olwa ‘Tulera Birerya’ era baggyeemu ekyokuyiga. Yasabye abantu okwegendereza abo aboogera ku nsonga za Kafeero n’abaana be nga beefudde abamumanyi ennyo, kubanga abamu bye boogera bya bulimba.

Tags:
Amawulire
Kafeero
Mulamu
Byama