Amawulire

Abaafiiridde mu musisi e Venezuela beeyongedde

EMBEERA eri e Venezuela ya bunkenke obw’amaanyi, ng’omuwendo gw’abantu abaakazuulwa nga baafiiridde mu 'musisi' ow’amaanyi eyabagoyezza gweyongedde.

Abaafiiridde mu musisi e Venezuela beeyongedde
By: Musasi Bukedde, Journalist @New Vision

EMBEERA eri e Venezuela ya bunkenke obw’amaanyi, ng’omuwendo gw’abantu abaakazuulwa nga baafiiridde mu 'musisi' ow’amaanyi eyabagoyezza gweyongedde.

 

Eggulo we bwazibidde, ng’abantu 1,450 be baakazuulwa nga baafiiridde mu 'musisi' ono ow’omutawaana, eyasudde ebizimbe n’okufuukuula ettaka, abantu ne bababikkira mu bifunfugu.

Pulezidenti Rodriguez bw'afaanana

Pulezidenti Rodriguez bw'afaanana

Ebitundu ebyasinze okukosebwa kuliko La Guaira ne Caracas, ng’abazimyamoto okuva mu mawanga ag’enjawulo bali mu kulwana okulaba nga bataasa abantu abakyali abalamu.

 

Okusinziira ku mukutu gwa CNN, amawanga ag’enjawulo okwetooloola ensi gaweerezza abakugu 2,624 okutaasa embeera n'embwa 137 eziyambako okuzuula ebifo awakyali abantu abalamu, kyanguye omulimu gw’okutaasa.

 

Eggulo, lyabadde ssanyu jjereere, oluvanyuma lw’okuzuula omukazi ne bbebi we abamaze ennaku ssatu wansi mu bifunfugu ne babazuula nga balamu.

Musisi Engeri Gye Yakosezza Venuezella

Musisi Engeri Gye Yakosezza Venuezella

Pulezidenti w’e Venezuela, Delcy Rodriguez yagambye nti bakyetaaga obuyambi okuva mu mawanga amazirakisa, n'ayongerayo omuggalo ku masomero mu bitundu ebyakoseddwa.

 

Musisi ono ow’omutawaana yaliwo ku Lwokusatu oluwedde nga June 24, 2026 ku ssaawa 12 ez’akawungeezi nga yafubutuka mu bukiikakkono bw’eggwanga, yagoyezza ebitundu ebiwerako, era abaayo bali maziga olw’okufiirwa abaabwe n’ebyobugagga

Tags:
Amawulire