Ebintu by'abasuubuzi ebibalirirwa mu bukadde bw'ensimbi, bitokomokedde mu muliro ogukutte sitoowa n'obuyumba mwe batundira ebintu e Kyankwanzi.
Gwokezza obuyumba obuwerako obukozesebwa ng'amaduuka ne sitoowa mwe babadde batereka ebyamaguzi era nga kisuubirwa guvudde ku ssigiri egambibwa okuba nga yalekeddwa mu kamu ku buyumba buno.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, akubirizza abantu okubeera abeEgendereza ennyo n'omuliro, naddala mu kiseera kino ekyomusana.