Abantu basatu abagambibwa okubeera emabega w'okugula essimu enzibe mu Kampala, bakwatiddwa.
Abakwatiddwa, kuliko Derrick Tumusiime nga yeeyita Gana, Fabrice Niyonzima amanyiddwa nga Sadat ne Emmy Kitoko.
Kitegeezeddwa nti abakwatiddwa be bamu ku bagula essimu enzibe ne bazikyusakyusa serial nnamba n'okuziggyamu looko olwo ne baziguza abantu abalala naddala mu mawanga omuli Congo ne Rwanda.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, agambye nti essimu 20, bannyini zo bamaze okubazuula, okusinziira ku misango egizze giroopebwa. Ayongeddeko nti ebikwekweto, bikyagenda mu maaso.