Amawulire

Miria Matembe asuze mu kkomera e Luzira

OMULWANIRIZI w'eddembe Miria Matembe asuze ku meere ku bigambibwa nti yakozesa ebigambo ebisosola mu mawanga n'okusiga obukyayi.

Miria Mtembe
By: Margret Zalwango, Journalist @New Vision

OMULWANIRIZI w'eddembe Miria Matembe asuze ku meere ku bigambibwa nti yakozesa ebigambo ebisosola mu mawanga n'okusiga obukyayi.
Matembe 73 omutuuze we Nakawa mu Kampala asimbiddwa mu kkooti yeddala erisooka e Luzira n'asomera omusango gw’okukozesa ebigambo ebigambibwa nti byagendererwa okusiga omukyayi.

Oludda oluwaabi lugamba nti Matembe mu June omwaka guno ng'asinziira ku mukutu owa DK Tv Uganda yagamba nti emisolo gyonna gyononebwa ku bakazi bebayayita ba minisita abanyankole ebigambo ebigambibwa nti byagendererwa kuysiga obukyayi oba okunyiiza abantu b’eggwanga lyabanankole. Omusango ogwamuvunaaniddwa yagwegaanye.
Matembe aleeteddwa mu kkooti ngawaniriddwa olw’embeera y’obulamu bwe egambibwa nti ssi nnungi ng'alumizibwa omugongo era bannamateeka be Steven Kalali ne Anthony Asiimwe baasabye kkooti emukkirize yeeyimirirwe kubanga mukazi mukadde ng’ate alina n’obulwadde mu mugongo nga bino byakakasiddwa mu bbaluwa ya poliisi gyebamukebereddeko.
Abadde mu maaso g’omulamuzi Sheila Gloria Atim.
Mu kkooti olw'obulumi tayasobodde kuyimriria era bakira atudde ku katebe nga bwagoberera ebigenda mu maaso nga mu kkooti abantu be baabaddewo kyokka abamu obwedda amaziga bwegabayitamu olwembeera gyebalabyemu omuntu waabwe.
Matembe alajaanidde omulamuzi nti mu mbeera ye tasobola kkomera kubanga alumizibwa omugongo yensonga lwaki bamuleese bamuwaniridde era bwaba yeetaga bujulizi basobola okubuleeta nesikaani okuva mu ddwaliro kkooti ekakase nti embeera sinnungi.
Amugambye ye Matembe mukazi mukadde atasobola kudduka bwaba amuyimbudde ngate n'embeera gyayitamu agiriba teyetaaga kumunyonyola nti oba yeekoza. Yasabye kkooti wakiri emusindike mu ddwaliro wansi w’obukuumi bwamakomera kubanga embeera gyalimu awulira ayagala kwavula wansi nga bebbi.
Omuwaabi wa gavumenti Mariam Kuluthum tawakanyizza kusaba kwa Matembe wabuala yagambye nti okunonyereza kukyagenda mu maaso.
wabula omulamuzi amutegezezza nti naye emikono gye misibe mu kiseera kyaleeteddwa mu kkooti nga nobudde byise nnyo ngakoyisa ekiragiro ekimusindika mu ddwaliro obudde bwabadde buyise nnyo.
Omulamuzi alagidde akomezebwewo leero ku Lwokusatu.

Tags: