Amawulire

Eby'eddogo mu Palamenti: Omubaka ayasizza ebyama by'ababaka abagenda ku ndagu

OMUBAKA aleese bwiino ku ddogo mu Palamenti ne mu byobufuzi n’alumiriza nti ababaka abasinga nga naye kw'ali bagenda mu basawo b'ekinnansi ne basobola okuwangula akalulu n'okwetangira ebizibu!

Omubaka Musila ayogedde ku by'eddogo.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMUBAKA aleese bwiino ku ddogo mu Palamenti ne mu byobufuzi n’alumiriza nti ababaka abasinga nga naye kw'ali bagenda mu basawo b'ekinnansi ne basobola okuwangula akalulu n'okwetangira ebizibu!

John Musila (Bubulo East) yategeezezza Bukedde nti bannabyafuzi okugenda mu ssabo yafuuka nkola era ababaka balina abasawo baabwe ababakolako.

"Tebakulimba ababaka fenna tugenda mu masabo, tunoonyaayo buwanguzi era nange mussabo ng'endayo, lwakuba babaka bannange beebuzaabuza tebaagala kwogera mazima," Omubaka Musila bwe yategeezezza Bukedde.

Wabula ababaka ab'enjawulo baanukudde Musila nti ebyo by'ayogera yeenoonyeza bibye era abamu bamulabudde nti yeeteeketeeke okunnyonnyola kye baayise ebyanjwanjwa mu lutuula lwa Palamenti oluddako.

Omu ku babaka eyasabye amannya ge okusirikirwa yagambye nti ateekateeka okuleeta ensonga eno mu lutuula lwa Palamenti, ayogere amannya g'ababaka abagenda mu masabo oba s'ekyo, abimenyewo.

Omubaka Joseph Sewungu yatadde obubaka ku mukutu gwa X ne yeesammula ebyayogeddwa Musila n'agamba nti ye kikafuuwe okulinnya mu ssabo ku nsonga yonna! Kyokka Musila bwe twazzeemu okumutuukirira n'akisimbako amannyo nti by'ayogera abimanyi era asobola n'okubiddamu mu Palamenti kubanga bituufu lwakuba abantu amazima gabakaayirira!

Ekitutwala mu masabo, omubaka Musila agambye si kirala wabula okunoonya emikisa gy’obuganzi mu bantu basobole okubayiira obululu n’obutafuna bizibu ng’endwadde, obubenje n’okusimattuka emiziziko egiyinza okwekiika mu buwanguzi bwabwe.

“Abagenda mu masinzizo emisana era be bamu abagenda mu masabo obudde bw’ekiro kuba tomanya mukisa gye gunaava. Ekyenjawulo bangi beewakana mu lujudde naye nga watadde kkamera enkessi mussabo, tewali munnabyabufuzi oba omunene mu Gavumenti gwotakwasa” bwe yategeezezza.

Musila yagambye nti ebiseera bya kampeyini bisukka era abasawo b’ekinnansi ne Bapaasita babatwalako ssente zaabwe nnyingi nga babalagula.

“Nga wabuuzizza omusawo omwesimbu ayinza okubuulira bwe bakola ennyo mu kampeyini kuba omubaka abeera afuluma ate kkansala n’ayingira ng’aliko n’obumansuka”omubaka bwe yakaatirizza. Bwe yabuuziddwa oba nga ddala abasamize bebawa emikisa egibayisaamu yagambye nti kiyinza obutaba kituufu, kyokka omuntu bwagenda ku musawo bamuteekateeka mu birowoozo n’anoonya akalulu n’obuvumu ng’amanyi buli kimu kisoboka.

“Puleesa ebeera mu kalulu, toyinza kuyingira kampeyini na mutwe mukalu, mpozzi ng’oyagala kutabuka mutwe. Mulaba muntu kwetala kuva eno adde eri awatali kuwummula, naye ng’obuvumu akozesa bwabasawo. Sijja kweggyamu nange nagendayo mu kampeyini ne bankolako” Musila bwe yeewaanye.

Omubaka okuvaayo kiddiridde Sipiika wa Palamenti Jacob Oboth okusaba Bannayuganda okumusabirako olwabantu be yagambye abakozesa eddogo okulwanyisa ofiisi

Yasinzidde ku mukolo ogwamutegekeddwa abalonzi ba West Budama Central nga bamukulisa okugwa mu gufo gw’obwa Sipiika ogwetabyeko n’omulabirizi we Bukedi, Rt Rev Samuel Bogere Egessa.

Yagambye nti waliwo abantu abeefunyiridde okumulwanyisa nga baagala okumutusaako obulabe nga bayita mu n’obukodyo obulala. Yasabye abantu okumusabira kuba akimanyi bulungi nti Katonda ali mu Ggulu gwasinza tamanyi ddogo lye bamusindikira. “Buli muntu agamba Palamenti ejudde eddogo, kyokka nina omuntu gwe manyi ali wag gulu ennyo atamanyi balogo era tebajja kunzija ku mulamwa gwa kugogola Palamenti nga nzigyamu ebikolwa by’okulya enguzi” Oboth bwe yagambye.

Abantu abaabadde ku mukolo baasigadde beewunya engeri ekifo kye basuubira okukung’aniramu abantu abayizi ate bwe bava ku by’okuteesa amaanyi ne bagateeka ku ddogo.

Musila yagambye nti kituufu Sipiika alabika ali ku kyokya kuba bannabyabufuzi nga tayawuddemu bibiina bonna tebava masabo.

EDDOGO LIRUDDEWO

Wadde nga Bannayuganda bangi bakkiririza mu nzikiriza za Kristo n’Obusiraamu, kyokka bangi basambisa abiri nga bwe bagenda ne mu masabo. Mu September wa 2020 waliwo omusajja eyakwatibwa n’omutwe gw’omwana ku Palamenti ng’agusabise ng’ekitereke n’ategeeza nti kyali kirabo kya Sipiika Rebecca Kadaga.

Kyategeerekeka oluvannyuma nti omutwe gwali gwa mwana eyattibwa mu bitundu bye Masaka era eyagulina Joseph Nuwashaba yakwatibwa n’avunaanibwa ogw’obutemu era mu 2024 yaweebwa ekibonerezo kyakusibwa emyaka 35.

Waliwo omusawo w’ekinnansi ow'e Kyotera amanyiddwa nga Jajja Kkuboggazi, eyavaayo mu 2021 n’alumiriza nga bwe yali akola ku mubaka omu ava mu bitundu by'e Masaka ng’amuwa emikisa n’ategeeza nti yali amuvuddeko era omubaka n’awangulwa.

Mu kulonda okuwedde okwa 2026, Jajja Kkuboggazi yatabagana n’omubaka era bataambula bonna era mwanattu akalulu n’akawuuta buva, abamu kye baataputa nti yamuddiza emikisa. Bannayuganda baayogedde ku ddogo Sipiika Oboth lye yeekokkola ne bawa amagezi ng’abamu baayise ku mukutu gwa X (eyali twitter). Winnie Byanyima, akulira ekitongole ky’ensi yonna ekirwanyisa siriimu ekya UNAIDS yeewuunyizza Sipiika okuba ng’akyakkiririza mu ddogo ne katemba w’abasawo n’amusaba akkakkane lw'ajja okutambuza obulungi emirimu.

Abalala baagambye nti tebeewuunyizza kuba n’abaaliko Basipiika Anita Among ne Rebecca Kadaga beerumirizaako okweroga. Munnamateeka Dr. Sarah Bireete era omulwanirizi w’eddembe ly’obuntu yasabye Sipiika ayongere okwetegereza ennyingo ya 79 eya Konsitityusoni ya Uganda amanye omugaso gwa Palamenti era alage obukulembeze obutuufu.

Yamusabye yeekwate ekitabo kya (1 Petero 3:12) awagamba nti; “Kubanga amaaso ga Mukama gali ku batuukirivu, N'amatu ge gali eri okusaba kwabwe: Naye obwenyi bwa Mukama buli ku abo abakola obubi”.

Waliwo omubaka eyasabye amannya ge gasirikirwe amaze ebisanja 2 eyagambye nti ebbanga lyamaze mu Palamenti, buli Sipiika gwe balonda asooka kuleeta bannaddiini mu ofiisi ne bagobamu emizimu.

Tags: