Amawulire

Poliisi eyise abamu ku bakulira ebitongole by'obwannakyewa - Rusoke

Ategeezezza nti, baamaze okubawereeza amabaluwa agabayita , nga kati babalindiridde okweyanjula ku kitebe kya poliisi ekibuuliriza ku buzzi bw'emisango.

Poliisi eyise abamu ku bakulira ebitongole by'obwannakyewa - Rusoke
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, akakasizza ng'abamu ku bakulira ebitongole by'obwannakyewa { Civil Society organisations } , bwe baabayise ku poliisi, okubaako bye bababuuza.

 

Ategeezezza nti, baamaze okubawereeza amabaluwa agabayita , nga kati babalindiridde okweyanjula ku kitebe kya poliisi ekibuuliriza ku buzzi bw'e misango.

 

Wabula Kituuma talambuludde mannya gaabo be beetaaga n'ebitongole bye bakoleramu, n'asuubiza nti ekiseera nga kituuse, baakubaasanguza.

Tags:
Amawulire
Poliisi
Kitongole