Amawulire

Palementi egenda kuwa alipoota ku mbeera ya Bannayuganda abali South Africa

GAVUMENTI olunaku olw’enkya (ku Lwokusatu) yakwanjulira palamenti lipoota enzijuvu  ku mbeera ya Bannayuganda 273 abaanunulibwa mu ggwanga lya South Africa gyebuvuddeko saako naabo abakyaliyo.

Thomas Tayebwa ng'ayogera
By: Teopista Nakamya, Journalist @New Vision

GAVUMENTI olunaku olw’enkya (ku Lwokusatu) yakwanjulira palamenti lipoota enzijuvu  ku mbeera ya Bannayuganda 273 abaanunulibwa mu ggwanga lya South Africa gyebuvuddeko saako naabo abakyaliyo.

Bitegeezeddwa omumyuka wa sipiika Thomas Tayebwa bw’abadde akubiriza olutuula lwa palamenti  .

Kiddiridde akulira oludda oluvuganya mu palamenti Joel Ssenyonyi okuteeka Gavumenti ku nninga ennyonyole embeera eriwo ku Bannayuganda ababadde bawangaalira mu ggwanga lya South Africa.

Oluvanyuma lw’eggwanga lino okutandika okukola olutalo ku bantu abatali Bannansi nga muno mwafiiramu Bannayuganda basatu ekyawalirizza Gavumenti okukola enteekateeka abamu ku Bannayuganda nebasobola okuggyibwayo.

Ssenyonyi asinzidde mu lutuula luno n’asaba gavumenti erambike weetuuse mu kulaba nga Bannayuganda bonna bakomezebwawo.

Atuuse n’okwebuuza oba nga ddala Uganda ebadde erina enkolagana ne ggwanga lya South Africa.

Omumyuka wa sipiika alabye ababaka batandise okwesowolayo okwogera ku nsonga yeemu n’alagira minisita avunaanyizibwa ku nsonga  z’ebweru w’eggwanga okutegeka okulaba nga ensonga eno etteekebwa ku lukangaga lw’ebyo ebirina okuteesebwako mu lutuula lwa palamenti nenkya  (Kulwokusatu) okukakanya bannayuganda ababadde beewanise emitima.

Tags: