Amawulire

Abalunzi abatandise okukweka omuwendo omutuufu ogw'ebisolo bye balina balabuddwa

ATWALA ebyobulunzi mu disitulikiti y’e Ibanda, Dr. Hillary Arinaitwe alabudde abalunzi abatandise okukweka omuwendo omutuufu ogw'ebisolo bye balina n’ekigendererwa ky'obutayagala kubisasulira za kugema.

Abalunzi abatandise okukweka omuwendo omutuufu ogw'ebisolo bye balina balabuddwa
By: Musasi Bukedde, Journalist @New Vision

ATWALA ebyobulunzi mu disitulikiti y’e Ibanda, Dr. Hillary Arinaitwe alabudde abalunzi abatandise okukweka omuwendo omutuufu ogw'ebisolo bye balina n’ekigendererwa ky'obutayagala kubisasulira za kugema.

Yabyogeredde mu maka ga Herbati Tweshengereze omutuuze w’e Kanyeganyege mu Town Council y’e Igolora mu Ibanda. Tweshengereze y‘omu ku balimi abasinga okulima emmwaanyi, okulunda ebisolo n’ebyennyanja.

Dr. Hillary agambye nti, oluvannyuma lwa Gavumenti okussaawo etteeka eriragira mulunzi okuwandiisa ebisolo bye n'okubisasulira okubigema kalusu okutandika n'omwezi guno. Ente n’embizzi bisasulirwa 8,000/-, embuzi n’endiga 4,000/- nga baakuzisasulira emirundi ebiri buli mwaka mu bbanka.

Dr. Hillary agamba nti, abalunzi batandise okukweka omuwendo omutuufu ogw'ebisolo byabwe n’akakodyo k’obutabisasulira. Abalimi abalala abasukkulumye ku bannaabwe baaweereddwa ebikozesebwa mu kulima ne satifikeeti okubasiima nga byabaweereddwa Gavumenti.

RDC Godfrey Mbetegyerize yanenyezza kkampuni ya Jumbo olw’okubawa ebikozesebwa ebitatuukanye na mutindo.

Tags:
Amawulire
Arinaitwe
Nsolo
Kulunda
Kulabula
Musawo