Amawulire

Omukazi agambibwa okufumita bba ekiso n'amutta ng'amulanga kunywera taaba okumpi ne w’asula akwatiddwa

Faridah Nakakande 38 nga mutuuze mu zzooni ya Bwire e Kabalagala Makindye mu Kampala, y'akwatiddwa ku bigambibwa nti afumise Bob Kalyango 53, ekiso ekimusse.

Omukazi agambibwa okufumita bba ekiso n'amutta ng'amulanga kunywera taaba okumpi ne w’asula akwatiddwa
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Omukazi agambibwa okufumita omusajja ekiso ekimusse ng'amulanga okunywera taaba okumpi ne w’asula, poliisi emukutte.

Faridah Nakakande 38 nga mutuuze mu zzooni ya Bwire e Kabalagala Makindye mu Kampala, y'akwatiddwa ku bigambibwa nti afumise Bob Kalyango 53, ekiso ekimusse.

Kalyango abadde akola gwa kuyonja ku ssomero lya Kabalagala Parents School era ng'abadde abeera Kibuli e Makindye

Bino, bibadde ku bbaala ya Namayanja mu zzooni ya Bwire, Kalyango bw'abadde anywera taaba okumpi n'ewa Nakakande w'asula ekivuddeko oluyombo nti okukkakkana, nga Nakakande afumise Kalyango ekiso ekimujje mu budde.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Recheal Kawala, agambye nti, omulambo gutwaliddwa mu ggwanika e Mulago, ekiso ekyeyambisiddwa mu ttemu nakyo ne bakizuula, ng'okunoonyereza bwe kukolebwa

Tags:
Misango
Mateeka
Mukazi
Mufumbo
Kutta