Amawulire

OBWAKABAKA bwa Buganda butongozza enteekateeka y'okugogola n'okuyonja ennyanja ya Kabaka

OBWAKABAKA bwa Buganda butongozza enteekateeka y'okugogola n'okuyonja ennyanja ya Kabaka

Ennyanja ya Kabaka
By: Dickson Kulumba, Journalist @New Vision

OBWAKABAKA bwa Buganda butongozza enteekateeka y'okugogola n'okuyonja ennyanja ya Kabaka esangibwa e Ndeeba mu Kampala.

Enkya ya leero Minisita w'obuwangwa,ennono, n'Obulambuzi mu Buganda, Dr. Anthony Wamala akedde kukuba ngoma Ssagalagalamidde okukunga abantu okujjanga mu bungi okukola bulungi bwansi ku nnyanja eno eyasimisibwa emikono ensonga obunene  mu Uganda.

Ennyanja ya Kabaka nga bwefaanana kati

Ennyanja ya Kabaka nga bwefaanana kati

Oluvanyuma lw'okukuba Ssaagalagalamidde, Dr. Anthony Wamala akulembeddemu abakungu, abantu abakulu, abaana b'amasomero okulambula embeera ennyanja eno mweri era agambye nti yetaaga okulabirira mu buli kadde okulaba ng'ebeera mu mbeera nnungi ssaako okugiteekamu akatimba akanasengejjanga amazzi agagiyingiramu. 

Omwami w'eggombola ye Lubaga, Samuel Bakanoga yeebazizza Minisita n'obukulembeze bw'Obwakabaka olw'enteekateeka eno kubanga tebasobola kifiirwa kintu kyamugaso bwekiti eri Bannakampala ne Bannayuganda okutwalira awamu. 

Embeera y'ennyanja ya Kabaka nga bwefaanana kati

Embeera y'ennyanja ya Kabaka nga bwefaanana kati

Ssentebe w'enteekateeka ya Bulungibwansi Eno eruubirira okugogola Ennyanja, Yusuf Lumu agambye nti ng'oggyeko abantu okujja okuyambako naye nataddewo n'abavubuka ab'enkalakalira abagenda okukulemberamu mu kuggya ekiddo ku nnyanja ate n'oluvanyuma okuggyamu ettaka eriridde kumpi amakkati g'ennyanja eno. 

Ennyanja ya Kabaka nga bwefaanana kati

Ennyanja ya Kabaka nga bwefaanana kati

Akulira emirimu mu kitongole ky'ebyobulambuzi mu Bwakabaka, Hajj Najib  Nsubuga ayogedde ku nnyanja eno ng'ekimu ku by'obulambuzi ebikulu mu Bwakabaka bwatyo era neyeebaza bonna abazze okwetaba mu nteekateeka eno. 

Ennyanja eno yasimibwa ku mulembe gwa Ssekabaka Muwanga II mu 1885 bweyali ayagala okukola omukutu ogumuggya mu Lubiri e Mmengo okuyingira e Munyonyo ku nnyanja Nalubaale

Tags: