Amawulire

Omukuumi avudde mu mbeera n'akuba omuvuzi wa boda boda essasi erimusse

Omukuumi avudde mu mbeera n'akuba omuvuzi wa boda boda essasi erimusse, bwe baafunye obutakaanya. 

Emmundu
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Omukuumi avudde mu mbeera n'akuba omuvuzi wa boda boda essasi erimusse, bwe baafunye obutakaanya. 

Edrine Shakul Kirya 19 omukuumi wa kampuni ya Centurion Security Company era nga mutuuze w'e Kiyunga mu Ggombolola y'e Kisozi  mu disitulikiti y'e Kamuli, y'akwatiddwa ku bigambibwa nti akubye Nuraini Mulwana 20 essasi mu luba n'afa. 

Omugenzi abadde muvuzi wa boda boda era ng'ettemu libadde ku kyalo Bugabwe mu Ggombolola y'e Nakigo e Iganga. 

Kigambibwa nti Mulwana yagenze mu Supermarket, omukuumi w'abadde akuuma nti ne bafuna obutakaanya nti wakati mu kuwanyisiganya ebisongovu, wamukubidde essasi erimusse. 

Omwogezi wa poliisi nu Busoga East, Micheal Kasadha, agambye nti omulambo gutwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaliro e Iganga okwekebejjebwa, omukuumi akwatiddwa n'emmundu egambibwa okukozesebwa nayo bagifunye ng'okubuuliriza, kugenda mu maaso

Tags: