IRAN ekozesezza wiiki ssatu zokka z’amaze ng’esirisizza emmundu ne America, okuddamu okuweesa emmundu empya ezigimala okwongera okulwana olutalo okumala ebbanga eddene.
Ezimu ku mmundu zino, omukambwe omupya ze yatandikiddeko nga yeesasuliza ku mawanga g’alumiriza okuyamba America ne Yisirayiri okutta kitaawe okwabadde; Kuwait, Bahrain, Qatar, Oman, Jordan, UAE nga yonna waliyo enkambi za America era
Ekimu ku bikyasobedde bambega ab’amaanyi okuli n’aba Mossad abakolera Yisirayiri, y’engeri Iran bw’ezzaawo eby’okulwanyisa ebiba bikubiddwa mu kadde katono n’eddamu okulwana. Bukya lutalo lutandika, emmundu za Iran zikubiddwa nga kigambibwa nti ziweddewo, okukkakkana ate ng’amawanga agagiriraanye galaga eggwanga eryo bwe libakubisizza emmundu zennyini naddala mizayiro ez’amaanyi ekika kya ballistic.
ENGERI GYE BAZIKUKULIRA
Ng’oggyeko empuku z’esima mu ttaka, okunoonyereza okweraliikirizza bazungu kulaga Iran bw’erina ebibuga wansi mu ttaka bye bayita ‘underground cities.’ Byazimbibwa wansi mu nsozi ne biteekebwako emiryango gye bayita ‘escape routes,’ nga singa ekibuga kikubwa, abaayo tebafa, babeera ne we bayita. Abakkirizibwa okubeera mu bibuga ebyo balina kubeera Bannassayansi, abamanyi okuweesa bbomu, mizayiro
n’emmundu endala ez’amaanyi.
Ebibuga ebyo byatandika biweesezebwamu n’okuterekebwamu bbomu za nukiriya ne bigaziyizibwa n’okuterekayo mizayiro. Ze baweesa ze basindika mu ddwaniro ne zikola nga n’ezimu zibadde zigezesebwa bugezesebwa. Abaamwo tebeebaka baba ku mulimu essaawa 24 nga bawanyisiganyiza mu kye bayita ‘shift,’ abakola ekiro ne beebaka emisana ab’emisana ne beebaka ekiro. Mu lukuba olupya America lw’eriko, ekuba enguudo esannyalaze Iran okutambuza eby’okulwanyisa ebipya mu kadde ke kamu ekuba n’amasannyalaze gaveeko kubanga ge gakozesebwa. Kyokka engeri Iran gye yeesimira amafuta, erina ga ggenereeta aganene ge yasuubula edda e China g’ekozesa n’amafuta ga dizero okupika amakolero era gakola butaweera. Omukutu gwa Wikipedia gulaga ebibuga bino bwe biri wansi mu ffuuti 1,640 ekizibu kya bbomu okubikubam okubiseeteeza.
Mu kusooka era byakubwako bbomu za America ekika kya GBU- 57 Massive Ordnance Penetrator. Emu yokka ezitowa kiro 13,607 era nnyonyi emu y’ezetikka gye bayita B-2 Kawundo. Ebibuga ebyo byakubwa ebimu ne bigwamu kyokka baabizimbamu obutundutundu bwe bayita, ‘massive underground halls’ n’emiryango gy’osobola okuyita ‘multiple concealed exit points via sophisticated internal railway systems.’ Emiryango egyo gyazimbibwako enguudo z’eggaali y’omukka eziba zitisse ebyokulwanyisa ebiwedde okuweesa. Empuku bw’ekubwa ne bwe bakoonako nkoone, eggaali zisimbulirawo okufuluma ne zitwala ebyokulwanyisa ebyo mu nfo ze bikozesebwa okukuba tageti mu kwesasuza. Empuku ne bw’ebeera tekubiddwa, eyo y’engeri era ebyokulwanyisa ebyo bwe bitambuzibwa okujja ku lukalu okukola emirimu gya Ayatollah n’eggye lye erya Iranian Revolutionary Guard Corps.
EMPUKU MU BISOZISOZI
Iran ejjudde ebisozisozi ebirimu empuku ezaatondebwa olw’enkula y’ensi eyo. Munda omwo eggye eryo mwe likukulira eby’okulwanyisa nga ne bwe bakuba enkambi, bibeera
mu njazi ezaatiseyatise gye bisigala nga biramu. Eyo y’emu ku nsonga lwaki Iran nzibu ya kulumbisa magye ga ku ttaka. Abajaasi babeera mu njazi nga basirise n’ebyokulwanyisa ate nga bambadde ebya kitaka ng’eddungu bwe lifaanana. Obatuukako totegedde ne bawanuka mu njazi, abalala mu ntuumu z’enfuufu ‘sand dunes,’ emmundu n’ekusekerako ggwe abeera abalumbye.
EBITONGOLE EBIKOLA EMMUNDU
lAerospace Industries Organization kino kisinga kukola nnyonyi ne sipeeya waazo, mizayiro ne drone ezeevuga zokka era byonna babiweeseza mu bibuga ebyo waggulu.
lWaliwo kye bayita Strategic Alliances and Technology Transfers nga mu nkola eno, Russia ne China zaasindikira Iran abakugu mu kuweesa ebyokulwanyisa, abajja ne tekinologiya waabwe ne bamugatta n’oweggwanga eryo ne bakola emmundu okusinziira ku kitongole kya Stockholm International Peace Research Institute.
lEkitongole ekyo ekinoonyereza ku ngeri y’okuzza emirembe mu nsi, kiraga nti Iran eyambiddwa amawanga ago okukola tekinologiya gwe bayita GPS jamming awugula ebyokulwanyisa by’omulabe. lNorth Korea eyambye Iran mu kadde ng’esirisizza emmundu okukukusa n’egituusaako emmundu empya naddala entonotono ezikuba ennyonyi.