David Ssekayombya.
AKAKIIKO ka State House Anti corruption unit kakutte O.C we kajjansi ku Police y'obutonde bw'ensi ku bigambibwa nti abadde asaba enguzi okubaako bakkiriza okukozesa olutobazi nga tewali abataataganya.

Naserenga Elly akwatiddwa ng'ali ku mpingu
Ono okukwatibwa basoose ku mutega akatego keyaguddemu era n'asaba obukadde bwa Uganda bubiri n'afunako 50 ku ssimu eri mu manyage ate endala ezibadde akakadde kamu ne kitundu yabadde azze okuzikima nga wano webamukwatidde.
Natasha Mariam omwogezi wa State House Anti corruption unit akakasizza okukwatibwa kwa Nasenga n'ategeeza nti essaawa yonna nga okunonyereeza ku wedded wakusimbibwa mu kkooti.
Akubirizza bannayuganda okwewala, okulya enguzi nga anakwatibwa kakumujutuka.

Hen 14
William Lubuulwa omwogezi wa NEMA agamba eyakwatiddwa si mukozi waabwe kyokka nga omuntu yenna akwatibwa nga alya enguzi avunanibwa ate ayonoona obutonde asibywa emyaka 12.
Akubirizza bannayuganda okukuuma obutiribiri entobazi kuba anasangibwa ng'abaziyiwamu ettaka ekibonereezo ajja kwasaako ebiri.
David Ssekayombya.