Amawulire

Abatuuze bakalambidde ku kuwagira ssentebe ali mu kkomera mu kalulu akabindabinda

Abawagizi ba NRM bakyasobeddwa olwa ssentebe waabwe akwatidde ekibiina bendera mu kalulu k’enkiiko z'ebyalo akabindabinda akyalemedde mu kkomera.

Abatuuze bakalambidde ku kuwagira ssentebe ali mu kkomera mu kalulu akabindabinda
By: Saul Wokulira, Journalist @New Vision

Abawagizi ba NRM bakyasobeddwa olwa ssentebe waabwe akwatidde ekibiina bendera mu kalulu k’enkiiko z'ebyalo akabindabinda akyalemedde mu kkomera.

Kansala Birabwa (mu ssaati Ya Nrm) N'abatuuze Oluvannyuma Lw'olukiiko Lw'ekyalo.

Kansala Birabwa (mu ssaati Ya Nrm) N'abatuuze Oluvannyuma Lw'olukiiko Lw'ekyalo.

Balemeddeko nti gwe bawagira era nga n’okumuwandiisa be baamuwandiisa mu kakiiko k’ebyokulonda nga taliiwo.

Ssentebe ali mu kkomera ye Ssemugga Robert ow'ekyalo Kyamugongo mu muluka gw'e Kitwe mu ggombolola y'e Kayonza, era abatuuze bwe baatudde mu lukiiko bakkaanyizza nti gwe baba banywererako.

Akola Nga Ssentebe Wa Nrm E Kayunga David Kato.

Akola Nga Ssentebe Wa Nrm E Kayunga David Kato.

Abatuuze nga bakulembeddwa omumyuka wa ssentebe, Isanga John ne kkansala Nakiwala Suzan owa Kitwe ne Balisanga bakalambidde nti omusibe gwe baagala era baamuwandiisa nga kati akalulu bakamunoonyeza nju ku nju wadde ali mu kkomera.

Ssentebe okukwatibwa yavunaanibwa okubba enkumbi, ebidomola n'esseppiki bwe yali agenze okulaba nga ekiragiro kya RDC Solomon Baleke kissimbwa mu nkola.

Abamu Ku Batuuze Era Abawagira Nrm Abaaweze Nti Ku Musibe Kwe basibidde Ku Bwassentebe. Ekif; Saul Wokulira

Abamu Ku Batuuze Era Abawagira Nrm Abaaweze Nti Ku Musibe Kwe basibidde Ku Bwassentebe. Ekif; Saul Wokulira

Ono okukwatibwa waliwo omutaka Ssaalongo Bafiirawala ow'emyaka 80, abaana be gwe baasibira sseng'enge ku kibanja ne bamugoba wabula omukadde bwe yeekubira enduulu ewa RDC w'e Kayunga mu kiseera ekyo Solomon Baleke yamuwa ekiwandiiko ekimuwa obuyinza ku kibanja kye yeegulira n'ayimiriza abaana okujooga kitaabwe.

Abatuuze bawanjagidde Katikkiro wa Uganda, Robinah Nabbanja n'abakulira ekitebe kya NRM bayingire mu nsonga zino ssentebe ayimbulwe kubanga bamulanga bwemage.

Akola nga ssentebe wa NRM mu disitulikiti y’e Kayunga, David Kato agamba nti abatuuze nga bwe baasalawo ne bagaana okusimbawo omuntu omulala ku bendera ya NRM era ne bagenda mu maaso n’okuwandiisa Ssemugga ataliiwo nabo nga ekibiina kw’oyo kwe basibidde.

Tags:
Ssentebe
Ssemugga
NRM
Kulonda
Bululu